1
Olubereberye 3:6
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
LUG68
Omukazi bwe yalaba ng'omuti mulungi okulya, era nga gusanyusa amaaso, n'omuti nga gwa kwegombebwa okuleeta amagezi, n'anoga ku bibala byagwo n'alya, n'awa era ne ku musajja we naye n'alya.
Параўнаць
Даследуйце Olubereberye 3:6
2
Olubereberye 3:1
N'omusota gwali mukalabakalaba okusinga ensolo zonna ez'omu nsiko, ze yakola Mukama Katonda. Ne gugamba omukazi nti Bw'atyo bwe yayogera Katonda nti Temulyanga ku miti gyonna egy'omu lusuku?
Даследуйце Olubereberye 3:1
3
Olubereberye 3:15
nange obulabe n'abuteekanga wakati wo n'omukazi, era ne wakati w'ezzadde lyo n'ezzadde ly'omukazi: (ezzadde ly'omukazi) lirikubetenta omutwe, naawe oliribetenta ekisinziiro.
Даследуйце Olubereberye 3:15
4
Olubereberye 3:16
N'agamba omukazi nti Okwongera naakwongerangako obulumi bwo n'okubeeranga kwo olubuto; mu bulumi mw'onoozaaliranga abaana; n'okwegomba kwo kunaabanga eri musajja wo, naye anaakufuganga.
Даследуйце Olubereberye 3:16
5
Olubereberye 3:19
Mu ntuuyo ez'omu maaso go mw'onooliiranga emmere, okutuusa lw'olidda mu ttaka; kubanga omwo mwe waggibwa; kubanga oli nfuufu ggwe, ne mu nfuufu mw'olidda.
Даследуйце Olubereberye 3:19
6
Olubereberye 3:17
N'agamba Adamu nti Kubanga owulidde eddoboozi lya mukazi wo, n'olya ku muti gwe nnakulagira nga njogera nti Togulyangako: ensi ekolimiddwa ku lulwo; mu kutegana mw'onoggyanga ebyokulya ennaku zonna ez'obulamu bwo
Даследуйце Olubereberye 3:17
7
Olubereberye 3:11
N'ayogera nti Ani eyakubuulira nti obadde bwereere? Olidde ku muti gwe nnakulagira obutagulyangako?
Даследуйце Olubereberye 3:11
8
Olubereberye 3:24
Bw'atyo n'agoba omuntu; n'azzaamu ebuvanjuba mu lusuku Adeni bakerubi, era n'ekitala ekimyansa ekikyukakyuka okukuumanga ekkubo ery'omuti ogw'obulamu.
Даследуйце Olubereberye 3:24
9
Olubereberye 3:20
Omusajja n'atuuma mukazi we erinnya lye Kaawa; kubanga ono ye nnyina w'abo bonna abalamu.
Даследуйце Olubereberye 3:20
Стужка
Біблія
Планы чытання
Відэа