ENTANDIKWA 6:1-4

ENTANDIKWA 6:1-4 LB03

Abantu bwe baatandika okweyongera obungi ku nsi, era nga bazadde abaana ab'obuwala, abaana ba Katonda ne balaba abawala b'abantu nga balungi, ne bawasaamu be baayagala. Mukama n'agamba nti: “Sijja kuleka bantu kuwangaala mirembe na mirembe, kubanga ba kufa. Banaawangaalanga emyaka egitasukka mu kikumi mu abiri.” Mu biro ebyo, ne mu biseera ebyaddirira, waaliwo abantu abawagguufu, abaazaalibwa abaana ba Katonda mu bawala b'abantu. Abo be bantu ab'amaanyi era abaayatiikirira mu mirembe egy'edda.

Чытаць ENTANDIKWA 6