1
Yokaana 13:34-35
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
Etteeka eriggya mbawa nti Mwagalanenga; nga bwe nnabaagalanga mmwe, era nammwe mwagalanenga. Bonna kwe banaategeereranga nga muli bayigirizwa bange, bwe munaabanga n'okwagalana mwekka na mwekka.”
Compare
Explore Yokaana 13:34-35
2
Yokaana 13:14-15
Kale oba nga nze Mukama wammwe era Omuyigiriza mbanaazizza ebigere, era nammwe kibagwanira okunaazagananga ebigere. Kubanga mbawadde ekyokulabirako, era nga bwe mbakoze nze, nammwe mukolenga bwe mutyo.
Explore Yokaana 13:14-15
3
Yokaana 13:7
Yesu n'addamu n'amugamba nti, “Kye nkola nze tokimanyi ggwe kaakano, naye olikitegeera luvannyuma.”
Explore Yokaana 13:7
4
Yokaana 13:16
Ddala ddala mbagamba nti Omuddu tasinga bukulu mukama we; so omutume tasinga bukulu oli eyamutuma.
Explore Yokaana 13:16
5
Yokaana 13:17
Bwe mubimanya ebyo, mulina omukisa bwe mubikola.
Explore Yokaana 13:17
6
Yokaana 13:4-5
n'ava ku mmere, ne yeeggyako omunagiro gwe, n'addira ekiremba, ne yeesiba ekimyu. N'alyoka addira amazzi nagateeka mu kibya, n'atandika okunaaza abayigirizwa ebigere n'okubisiimuuza ekiremba kye yali yeesibye.
Explore Yokaana 13:4-5
Home
Bible
Plans
Videos