Naddira emigwa n'agikozesa nga embooko, n'abagoba bonna mu Yeekaalu, n'agobamu endiga n'ente; n'ayiwa effeeza ez'abawaanyisa effeeza, n'avuunika n'emmeeza zaabwe. N'agamba abaali batunda enjiibwa nti, “Muggyeewo ebintu bino; muleme kufuula nnyumba ya Kitange nnyumba ya busubuzi.”