“ Mwekuumenga abawandiisi, abaagala okutambuliranga mu ngoye empanvu, abaagala okulamusibwanga mu butale, n'okuweebwa entebe ez'oku mwanjo mu makuŋŋaaniro, n'ebifo eby'ekitiibwa ku mbaga; era abanyaga ennyumba za bannamwandu, abasaba ennyo mu bunnanfuusi: abo balisalirwa omusango ogusinga obunene.”