Awo olwatuuka, Musa ng’amaze okukula, n’agendako mu bantu be Abaebbulaniya, n’alaba emirimu emikakanyavu gye baali bakozesebwa. N’alaba Omumisiri ng’akuba Omwebbulaniya, omuntu ow’omu baganda be. Awo Musa n’amagamaga, bwe yalaba nga teri muntu mulala amulaba, n’akwata Omumisiri n’amutta, n’amukweka mu musenyu.