“Falaawo bw’anaabagamba nti, ‘Mukoleeyo ekyamagero,’ nga ggwe ogamba Alooni nti, ‘Ddira omuggo gwo ogusuule wansi awali Falaawo,’ era gunaafuuka omusota.”
Awo Musa ne Alooni ne bagenda ewa Falaawo, ne bakola nga MUKAMA bwe yabalagira. Alooni n’asuula omuggo gwe wansi awali Falaawo n’abaweereza be, ne gufuuka omusota.