N’awa Yusufu omukisa, n’agamba nti,
“Katonda wa jjajjange
Ibulayimu ne kitange Isaaka gwe baatambulira mu maaso ge,
Katonda oyo ankulembedde obulamu bwange bwonna
okutuusa leero,
Malayika oyo eyannunula okuva mu bizibu byonna,
owe omukisa abalenzi bano.
Erinnya lyange lyeyongerenga okutuumibwa mu bo
era n’erya Ibulayimu n’erya Isaaka.
Era bafuuke ekibiina ekinene
mu maaso g’ensi.”