1
Olubereberye 50:20
Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
EEEE
Mwagenderera okunnumya, naye Katonda n’akifuula ekirungi, n’akikozesa abantu baleme okufa.
Compare
Explore Olubereberye 50:20
2
Olubereberye 50:19
Naye Yusufu n’abagamba nti, “Temutya, nze ndi mu kifo kya Katonda?
Explore Olubereberye 50:19
3
Olubereberye 50:21
Noolwekyo temutya, nzija kubaliisa mmwe n’abaana bammwe.” Bw’atyo n’abagumya n’abazaamu amaanyi.
Explore Olubereberye 50:21
4
Olubereberye 50:17
tugambanga Yusufu nti, ‘Nkusaba osonyiwe baganda bo bye bakusobya n’ekibi kyabwe, kubanga baasobya nnyo gy’oli.’ Kale nno kaakano tukusaba osonyiwe okusobya kw’abaweereza ba Katonda wa kitaawo.” Yusufu bwe baakimugamba n’akaaba.
Explore Olubereberye 50:17
5
Olubereberye 50:24
Yusufu n’agamba baganda be nti, “Nnaatera okufa, naye Katonda alibakyalira n’abalinnyisa okubaggya mu nsi eno; n’abatwala mu nsi gye yalayirira Ibulayimu, ne Isaaka ne Yakobo.”
Explore Olubereberye 50:24
6
Olubereberye 50:25
Awo Yusufu n’alayiza abaana ba Isirayiri ng’agamba nti, “Katonda alibakyalira, nammwe mulinyisanga amagumba gange okugaggya wano.”
Explore Olubereberye 50:25
7
Olubereberye 50:26
Bw’atyo Yusufu n’afa, ng’alina emyaka kikumi mu kkumi; ne bakalirira omulambo gwe n’ateekebwa mu ssanduuko mu Misiri.
Explore Olubereberye 50:26