1
Makko 10:45
Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
N’Omwana w’Omuntu, teyajja ku nsi kuweerezebwa, wabula okuweereza abalala, era n’okuwaayo obulamu bwe ng’omutango okununula abangi.”
Compare
Explore Makko 10:45
2
Makko 10:27
Yesu n’abatunuulira enkaliriza n’abaddamu nti, “Eri abantu tekiyinzika. Naye eri Katonda, buli kintu kyonna kisoboka.”
Explore Makko 10:27
3
Makko 10:52
Awo Yesu n’amugamba nti, “Ggenda, okukkiriza kwo kukuwonyezza.” Amangwago omusajja n’azibuka amaaso, n’agoberera Yesu.
Explore Makko 10:52
4
Makko 10:9
Noolwekyo Katonda be yagatta awamu, omuntu tabaawukanyanga.”
Explore Makko 10:9
5
Makko 10:21
Yesu n’amutunuulira enkaliriza, n’amwagala. N’amugamba nti, “Waliwo ekintu kimu kyokka ekikubulako, era kye kino: genda otunde ebintu byonna by’olina, ensimbi z’onoggyamu ozigabire abaavu, oliba n’obugagga mu ggulu, olyoke ojje ongoberere.”
Explore Makko 10:21
6
Makko 10:51
Yesu n’amubuuza nti, “Oyagala nkukolere ki?” Omuzibe w’amaaso n’addamu nti, “Ayi Omuyigiriza, njagala nsobole okulaba!”
Explore Makko 10:51
7
Makko 10:43
naye mu mmwe si bwe kiri bwe kityo. Yenna ayagala okuba omukulembeze mu mmwe, asaanira abeerenga muweereza wa banne.
Explore Makko 10:43
8
Makko 10:15
Ddala ddala mbagamba nti omuntu yenna atakkiriza bwakabaka bwa Katonda ng’omwana omuto, tagenda kubuyingira n’akatono.”
Explore Makko 10:15
9
Makko 10:31
Naye bangi aboolubereberye baliba abooluvannyuma, n’ab’oluvannyuma baliba aboolubereberye.”
Explore Makko 10:31
10
Makko 10:6-8
Naye okuva ku lubereberye yabatonda omusajja n’omukazi. Omusajja ky’anaavanga aleka kitaawe ne nnyina, n’agenda n’agattibwa ne mukazi we. Olwo nga tebakyali babiri, wabula nga bafuuse omubiri gumu.
Explore Makko 10:6-8
Home
Bible
Plans
Videos