1
Olubereberye 9:12-13
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
Katonda n'ayogera nti Kano ke kabonero ak'endagaano gye ndagaana nze nammwe na buli kitonde kiramu ekiri nammwe, okutuusa emirembe egitaliggwaawo: nteeka musoke wange ku kire, era anaabanga kabonero ak'endagaano gye ndagaanye n'ensi.
Compare
Explore Olubereberye 9:12-13
2
Olubereberye 9:16
Ne musoke anaabanga ku kire nange naamutunuuliranga, njijukire endagaano eteridiba Katonda gy'alagaanye na buli kitonde ekiramu ekirina omubiri kyonna ekiri mu nsi.
Explore Olubereberye 9:16
3
Olubereberye 9:6
Buli muntu anaayiwanga omusaayi gw'omuntu, omusaayi gwe guyiyibwenga abantu: kubanga mu kifaananyi kya Katonda mwe yakolera abantu.
Explore Olubereberye 9:6
4
Olubereberye 9:1
Katonda n'awa Nuuwa n'abaana be omukisa, n'abagamba nti Mwalenga mweyongerenga, mujjule ensi.
Explore Olubereberye 9:1
5
Olubereberye 9:3
Buli kiramu ekitambula kinaabanga kya kulya gye muli; ng'omuddo ogumera byonna mbibawadde.
Explore Olubereberye 9:3
6
Olubereberye 9:2
N'ekitiibwa kyammwe n'entiisa yammwe binaabanga ku buli nsolo ey'ensi ne ku buli nnyonyi eya waggulu; era ne byonna ebijjuza olukalu, n'ebyennyanja byonna, biweereddwayo mu mukono gwammwe.
Explore Olubereberye 9:2
7
Olubereberye 9:7
Nammwe mwalenga, mweyongerenga; muzaalenga nnyo ku nsi, mweyongerenga omwo.
Explore Olubereberye 9:7
Home
Bible
Plans
Videos