1
Yokaana 11:25-26
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
Yesu n'amugamba nti Nze kuzuukira, n'obulamu: akkiriza nze, newakubadde ng'afudde, aliba mulamu: na buli muntu mulamu akkiriza nze talifa emirembe n'emirembe. Okkiriza ekyo?
Compare
Explore Yokaana 11:25-26
2
Yokaana 11:40
Yesu n'amugamba nti Sikugambye nti Bw'onokkiriza, onoolaba ekitiibwa kya Katonda?
Explore Yokaana 11:40
3
Yokaana 11:35
Yesu n'akaaba amaziga.
Explore Yokaana 11:35
4
Yokaana 11:4
Naye Yesu bwe yawulira, n'agamba nti Obulwadde buno si bwa kufa wabula olw'ekitiibwa kya Katonda, Omwana wa Katonda abe n'ekitiibwa olw'obwo.
Explore Yokaana 11:4
5
Yokaana 11:43-44
Bwe yamala okwogera bw'ati, n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene nti Lazaalo, fuluma ojje. Eyali afudde n'afuluma, ng'azingiddwa mu mabugo amagulu n'emikono; n'ekiremba nga kisibiddwa mu maaso ge. Yesu n'abagamba nti Mumusumulule, mumuleke agende.
Explore Yokaana 11:43-44
6
Yokaana 11:38
Awo Yesu bwe yasinda ate mu nda ye, n'atuuka ku ntaana. Yali mpuku, ng'eteekeddwako ejjinja kungulu.
Explore Yokaana 11:38
7
Yokaana 11:11
Yayogera bw'ati, n'alyoka abagamba nti Mukwano gwaffe Lazaalo yeebase; naye ŋŋenda okumuzuukusa.
Explore Yokaana 11:11
Home
Bible
Plans
Videos