1
Lukka 14:26
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
Omuntu bw'anajjanga gye ndi, n'atakyawa kitaawe ne nnyina ne mukazi we, n'abaana be, ne baganda be, ne bannyina, era n'obulamu bwe ye, taayinzenga kuba muyigirizwa wange.
Compare
Explore Lukka 14:26
2
Lukka 14:27
Buli ataasitulenga musalaba gwe ye, n'ajja ennyuma wange, taayinzenga kuba muyigirizwa wange.
Explore Lukka 14:27
3
Lukka 14:11
Kubanga buli muntu yenna eyeegulumiza alitoowazibwa; n'oyo eyeetoowaza aligulumizibwa.
Explore Lukka 14:11
4
Lukka 14:33
Kale bwe kityo buli muntu yenna ku mmwe ateefiirizenga byonna by'ali nabyo, taayinzenga kuba muyigirizwa wange.
Explore Lukka 14:33
5
Lukka 14:28-30
Kubanga ani ku mmwe bw'aba ng'ayagala okuzimba ennyumba, atasooka kutuula n'abalirira eby'emirimu gyayo, oba ng'alina eby'okugimala? Mpozzi bw'aba ng'amaze okuteekawo omusingi bw'atayinza kugimaliriza, bonna abalaba batanula okumusekerera, nga bagamba nti Omuntu ono yasooka okuzimba n'atayinza kumala.
Explore Lukka 14:28-30
6
Lukka 14:13-14
Naye bw'ofumbanga embaga, oyitanga abaavu n'abalema n'abawenyera n'abazibe b'amaaso: era oliweebwa omukisa; kubanga tebalina kya kukusasula: kubanga olisasulirwa mu kuzuukira kw'abatuukirivu.
Explore Lukka 14:13-14
7
Lukka 14:34-35
Kale omunnyo mulungi: naye n'omunnyo bwe guggwaamu ensa, mulizzaamu ki? Tegusaanira nnimiro newakubadde olubungo, bagusuula bweru. Alina amatu ag'okuwulira, awulire.
Explore Lukka 14:34-35
Home
Bible
Plans
Videos