Obayigirize amateeka n'ebiragiro, era obagunjule mu mpisa ze basaanidde okuyisa, ne mu mirimu gye basaanidde okukola. Era mu bantu bonna, londamu abasajja ab'amagezi, abassaamu Katonda ekitiibwa ab'amazima era abakyawa enguzi, obateekewo okukulira abantu. Wabeewo abakulira enkumi, n'abakulira ebikumi, n'abakulira amakumi ataano ataano, n'abakulira ekkumi kkumi