“Oliragira Abayisirayeli bakuleetere amafuta amalungi ag'omuzayiti, ag'okuteeka mu ttaala, esobole okwakanga bulijjo. Arooni ne batabani be baliteeka ettaala mu Weema ey'okunsisinkanirangamu, ebeerenga ebweru w'olutimbe oluli mu maaso g'Essanduuko ey'Endagaano, eyakirenga awo mu maaso gange, okuva olweggulo okutuusa enkya. Etteeka eryo linaakuumibwanga ennaku zonna Abayisirayeli ne bazzukulu baabwe.