1
EKY'ABALEEVI 26:12
Luganda DC Bible 2003
LBwD03
Nnaatambuliranga mu mmwe, ne mba Katonda wammwe, mmwe ne muba bantu bange.
Compare
Explore EKY'ABALEEVI 26:12
2
EKY'ABALEEVI 26:4
nnaabawanga enkuba mu biseera byayo, ensi n'ebaza ebirime, n'emiti egy'omu nnimiro ne gibala ebibala.
Explore EKY'ABALEEVI 26:4
3
EKY'ABALEEVI 26:3
“Bwe munaakoleranga ku mateeka gange, ne mukuumanga ebiragiro byange
Explore EKY'ABALEEVI 26:3
4
EKY'ABALEEVI 26:6
“Nnaabawanga emirembe mu nsi yammwe, ne mwebakanga nga tewali abatiisa. Era ndimalawo ensolo ez'akabi mu nsi yammwe, era ensi yammwe teebeerengamu ntalo.
Explore EKY'ABALEEVI 26:6
5
EKY'ABALEEVI 26:9
Nnaabawanga mmwe omukisa, ne mbawa okuzaala abaana bangi, era nnaakuumanga endagaano gye nakola nammwe.
Explore EKY'ABALEEVI 26:9
6
EKY'ABALEEVI 26:13
Nze Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri, mulyoke mulemenga kuba baddu baabwe. Namenyawo obuyinza obwali bubasibye ekikoligo, ne mbatambuza nga mwesimbye.
Explore EKY'ABALEEVI 26:13
7
EKY'ABALEEVI 26:11
Nnaabeeranga mu mmwe, era siibakyawenga.
Explore EKY'ABALEEVI 26:11
8
EKY'ABALEEVI 26:1
“Temwekolerenga bifaananyi oba okwesimbirawo ekifaananyi ekyole, wadde empagi esinzibwa, oba ejjinja eryole okubisinzanga. Nze Mukama Katonda wammwe.
Explore EKY'ABALEEVI 26:1
9
EKY'ABALEEVI 26:10
Munaalyanga ku bye mwakungula edda ne mutereka, era munaafulumyanga ebyo ebikadde okuyingiza ebiggya.
Explore EKY'ABALEEVI 26:10
10
EKY'ABALEEVI 26:8
Abataano ku mmwe banaawangulanga ekikumi, n'ekikumi ku mmwe banaawangulanga omutwalo mulamba. Mu lutalo, abalabe bammwe banaagwanga ne bafa mu maaso gammwe.
Explore EKY'ABALEEVI 26:8
11
EKY'ABALEEVI 26:5
Ebirime byammwe binaabalanga nnyo, ne muwuulanga eŋŋaano okutuuka ku kunoga emizabbibu, n'okunoga ne kutuuka mu kiseera eky'okusigiramu eŋŋaano. Munaalyanga emmere ne mukkuta, era munaabeeranga mirembe mu nsi yammwe.
Explore EKY'ABALEEVI 26:5
12
EKY'ABALEEVI 26:7
Munaawangulanga abalabe bammwe.
Explore EKY'ABALEEVI 26:7
13
EKY'ABALEEVI 26:2
Mukuumenga Sabbaato zange, era mussengamu ekitiibwa Ekifo kyange Ekitukuvu. Nze Mukama.
Explore EKY'ABALEEVI 26:2