1
MARIKO 13:13
Luganda DC Bible 2003
Era nammwe abantu bonna balibakyawa olw'okuba muli bagoberezi bange. Naye oyo aligumira ebizibu okutuusa ku nkomerero, alirokolebwa.
Compare
Explore MARIKO 13:13
2
MARIKO 13:33
Mwerinde, mutunule, kubanga temumanyi kiseera kirindirirwa we kirituukira.
Explore MARIKO 13:33
3
MARIKO 13:11
“Era bwe babakwatanga ne babawaayo mu mbuga z'amateeka, temweraliikiriranga kye munaayogera, naye mwogeranga ekyo Katonda ky'abawa okwogera mu kaseera ako. Ebigambo bye mulyogera tebiriba byammwe, wabula bya Mwoyo Mutuukirivu.
Explore MARIKO 13:11
4
MARIKO 13:31
Ensi n'ebiri waggulu mu bbanga biriggwaawo, naye ebigambo byange tebiriggwaawo.
Explore MARIKO 13:31
5
MARIKO 13:32
“Naye tewali amanyi lunaku lwennyini na ssaawa, ebyo we biribeererawo, newaakubadde bamalayika mu ggulu, wadde Mwana, wabula Kitange yekka ye amanyi.
Explore MARIKO 13:32
6
MARIKO 13:7
Era bwe muwuliranga entalo wano ne wali, temutyanga. Zino ziteekwa okugwawo, naye enkomerero eriba tennatuuka.
Explore MARIKO 13:7
7
MARIKO 13:35-37
Kale mutunule, kubanga temumanyi nnannyini maka w'alijjira, oba mu ttumbi, oba enkoko we zikookolimira, oba mu makya, aleme kubagwako bugwi, n'abasanga nga mwebase. Kye ŋŋamba mmwe, era kye ŋŋamba n'abalala bonna nti: Mutunule!”
Explore MARIKO 13:35-37
8
MARIKO 13:8
“Eggwanga erimu lirirumba eggwanga eddala, n'obwakabaka bulirumba obwakabaka obulala. Walibaawo okukankana kw'ensi mu bitundu bingi, era enjala erigwa. Olwo okubonaabona kuliba kutandika butandisi.
Explore MARIKO 13:8
9
MARIKO 13:10
Enkomerero nga tennatuuka, Amawulire Amalungi gateekwa okumala okutegeezebwa abantu mu mawanga gonna.
Explore MARIKO 13:10
10
MARIKO 13:6
Bangi balijja nga beeyita nze, era balibuzaabuza bangi.
Explore MARIKO 13:6
11
MARIKO 13:9
“Naye mwekuume, kubanga balibakwata ne babawaayo mu mbuga z'amateeka. Balibakubira mu makuŋŋaaniro. Era muliyimirira mu maaso g'abaami n'aga bakabaka ku lwange, okubatuusaako obubaka bwange.
Explore MARIKO 13:9
12
MARIKO 13:22
Abalimba nga beeyita Kristo, oba nga beeyita abalanzi, balirabika, ne bakola ebyamagero era ebyewuunyisa, nga bagenderera okukyamya abalondemu ba Katonda, singa kisoboka.
Explore MARIKO 13:22
13
MARIKO 13:24-25
“Mu nnaku ezo, ng'ekiseera eky'okubonaabona kiwedde, enjuba erijjako ekizikiza, n'omwezi gulirekayo okwaka. Emmunyeenye ziriwanuka waggulu ne zigwa, n'amaanyi agali waggulu mu bbanga galinyeenyezebwa.
Explore MARIKO 13:24-25
Home
Bible
Plans
Videos