“Nze nzennyini neerobozezza ne ntwala Abaleevi be nzigye mu Bayisirayeli, mu kifo ky'okutwala buli muggulanda mu baana ab'obulenzi ab'Abayisirayeli. Kaakano Abaleevi bafuuse bange, kubanga buli muggulanda, wange. Okuva ku lunaku lwe nattirako abaggulanda bonna mu nsi y'e Misiri, neeyawulira buli muggulanda mu Yisirayeli, ow'abantu n'ow'ensolo. Banaabeeranga bange, Nze Mukama.”