1
ENTANDIKWA 32:28
Luganda Bible 2003
Omusajja n'agamba nti: “Tokyayitibwanga Yakobo, wabula YISIRAYELI, kubanga omegganye ne Katonda era n'abantu, era owangudde.”
Compare
Explore ENTANDIKWA 32:28
2
ENTANDIKWA 32:26
N'agamba Yakobo nti: “Nta ŋŋende, kubanga emmambya esala.” Yakobo n'agamba nti: “Sijja kukuta wabula ng'ompadde omukisa.”
Explore ENTANDIKWA 32:26
3
ENTANDIKWA 32:24
Kyokka ye n'asigalayo yekka. Awo omusajja n'ajja, n'ameggana naye, okutuusa emmambya lwe yasala.
Explore ENTANDIKWA 32:24
4
ENTANDIKWA 32:30
Yakobo n'atuuma ekifo ekyo erinnya Penweli, ng'agamba nti: “Ndabaganye ne Katonda maaso na maaso, ne nsigala nga ndi mulamu!”
Explore ENTANDIKWA 32:30
5
ENTANDIKWA 32:25
Omusajja bwe yalaba nga tajja kumegga Yakobo, n'amukoona ku bbunwe, bbunwe wa Yakobo n'awogoka ng'ameggana naye.
Explore ENTANDIKWA 32:25
6
ENTANDIKWA 32:27
Omusajja n'amubuuza nti: “Erinnya lyo gwe ani?” N'addamu nti: “Yakobo.”
Explore ENTANDIKWA 32:27
7
ENTANDIKWA 32:29
Yakobo n'agamba nti: “Nkwegayiridde, mbuulira erinnya lyo.” Naye oli n'addamu nti: “Kiki ekikumbuuzisa erinnya lyange?” N'aweera Yakobo omukisa mu kifo ekyo.
Explore ENTANDIKWA 32:29
8
ENTANDIKWA 32:10
sisaanira n'akatono ekisa kyonna n'obwesigwa bwonna bye wandaga nze omuweereza wo. Nasomoka omugga guno Yorudaani, nga nnina muggo gwokka. Naye kaakano nkomyewo, nga nnina ebibinja bibiri.
Explore ENTANDIKWA 32:10
9
ENTANDIKWA 32:32
N'okutuusa kati Abayisirayeli kyebava batalya ekinywa ekiri ku bbunwe, kubanga ku kinywa ekyo, omusajja kwe yakoona Yakobo.
Explore ENTANDIKWA 32:32
10
ENTANDIKWA 32:9
Awo Yakobo n'agamba nti: “Ayi Katonda wa jjajjange Aburahamu, era Katonda wa kitange Yisaaka, ayi Mukama ggwe eyaŋŋamba nti: ‘Ddayo mu nsi y'ewammwe era eri baganda bo, ndikuluŋŋamiza buli kintu,’
Explore ENTANDIKWA 32:9
11
ENTANDIKWA 32:11
Nkwegayiridde, mponya muganda wange Esawu kubanga mmutya, sikulwa ng'ajja n'atutta ffenna, nga tataliza na bakazi wadde abaana.
Explore ENTANDIKWA 32:11
Home
Bible
Plans
Videos