1
ENTANDIKWA 35:11-12
Luganda Bible 2003
Katonda n'amugamba nti: “Nze Katonda Omuyinzawaabyonna. Zaala abaana bangi. Eggwanga n'ekibiina eky'amawanga birisibuka mu gwe, era oliba jjajja wa bakabaka. Era ensi gye nawa Aburahamu ne Yisaaka, ndigikuwa ggwe, era ndigiwa ne bazzukulu bo abaliddawo.”
Compare
Explore ENTANDIKWA 35:11-12
2
ENTANDIKWA 35:3
tusituke, twambuke e Beteli, era eyo Katonda nja kumuzimbirayo alutaari, kubanga yannyamba mu kiseera mwe nabeerera mu buzibu, era yabanga nange buli we nagendanga.”
Explore ENTANDIKWA 35:3
3
ENTANDIKWA 35:10
Katonda n'amugamba nti: “Erinnya lyo ggwe Yakobo. Naye okuva kati, Yisirayeli lye linaabanga erinnya lyo.” N'amutuuma erinnya Yisirayeli.
Explore ENTANDIKWA 35:10
4
ENTANDIKWA 35:2
Awo Yakobo n'agamba ab'omu nnyumba ye, n'abo bonna abaali naye nti: “Muggyeewo balubaale abali mu mmwe, mwetukuze, mukyuse ebyambalo byammwe, mwambale ebiyonjo
Explore ENTANDIKWA 35:2
5
ENTANDIKWA 35:1
Katonda n'agamba Yakobo nti: “Situka oyambuke e Beteli, obeere eyo, onzimbireyo alutaari, nze Katonda eyakulabikira bwe wadduka muganda wo Esawu.”
Explore ENTANDIKWA 35:1
6
ENTANDIKWA 35:18
Bwe yali ng'anaatera okufa, n'atuuma omwana erinnya Benoni. Naye kitaawe n'amutuuma Benyamiini.
Explore ENTANDIKWA 35:18
Home
Bible
Plans
Videos