1
ENTANDIKWA 37:5
Luganda Bible 2003
Awo Yosefu n'aloota ekirooto. Bwe yakibuulira baganda be, ne beeyongera okumukyawa.
Compare
Explore ENTANDIKWA 37:5
2
ENTANDIKWA 37:3
Yisirayeli yayagalanga Yosefu okusinga abaana be abalala bonna, kubanga gwe yazaala mu bukadde. N'amutungira ekyambalo eky'amabala amangi.
Explore ENTANDIKWA 37:3
3
ENTANDIKWA 37:4
Baganda ba Yosefu bwe baalaba nga kitaabwe amwagala okusinga bw'ayagala bo bennyini, ne bamukyawa, ne batayinza kwogeranga naye bya mirembe.
Explore ENTANDIKWA 37:4
4
ENTANDIKWA 37:9
Yosefu era n'aloota ekirooto ekirala, n'akibuulira baganda be, n'agamba nti: “Naloose ekirooto ekirala, mwe nalabidde enjuba n'omwezi n'emmunyeenye kkumi n'emu nga binvuunamira.”
Explore ENTANDIKWA 37:9
5
ENTANDIKWA 37:11
Baganda ba Yosefu ne bamukwatirwa obuggya, naye kitaawe n'akuumanga ebyo Yosefu bye yayogera.
Explore ENTANDIKWA 37:11
6
ENTANDIKWA 37:6-7
N'abagamba nti: “Muwulire ekirooto kino kye naloose. Kale twabadde tusiba ebinywa by'eŋŋaano mu nnimiro, ekinywa ekyange ne kisituka, ne kyesimba. Ebinywa ebyammwe ne bijja ne bikyetooloola, ne bivuunamira ekinywa ekyange.”
Explore ENTANDIKWA 37:6-7
7
ENTANDIKWA 37:20
Kale mujje tumutte tumusuule mu bumu ku bunnya. Tuligamba nti: ‘Ensolo enkambwe ye yamulya,’ tulabe ebirooto bye bwe biriba.”
Explore ENTANDIKWA 37:20
8
ENTANDIKWA 37:28
Abasuubuzi Abamidiyaani bwe baali bayitawo, baganda ba Yosefu ne basika Yosefu ne bamuggya mu bunnya, ne bamutunda mu Bayisimayeli abo ebitundu amakumi abiri ebya ffeeza. Abo ne batwala Yosefu mu Misiri.
Explore ENTANDIKWA 37:28
9
ENTANDIKWA 37:19
Ne bagambagana nti: “Ssekalootera wuuyo ajja.
Explore ENTANDIKWA 37:19
10
ENTANDIKWA 37:18
Ne bamulengera ng'akyali wala, era bwe yali nga tannabatuukako, ne bamwekobera okumutta.
Explore ENTANDIKWA 37:18
11
ENTANDIKWA 37:22
Rewubeeni era n'agamba nti: “Temuyiwa musaayi. Mumusuule mu bunnya buno obuli mu ddungu, naye temumukolako kabi.” Yayogera bw'atyo ng'ayagala abamuwonye, amuddize kitaawe.
Explore ENTANDIKWA 37:22
Home
Bible
Plans
Videos