1
ENTANDIKWA 50:20
Luganda Bible 2003
Mmwe mwayagala okunkola ekibi, naye Katonda n'ayagala kiveemu ekirungi okuwonya obulamu bw'abantu abangi, abakyali abalamu kati, olw'ekyo ekyabaawo.
Compare
Explore ENTANDIKWA 50:20
2
ENTANDIKWA 50:19
Naye Yosefu n'abagamba nti: “Temutya. Siyinza kweteeka mu kifo kya Katonda.
Explore ENTANDIKWA 50:19
3
ENTANDIKWA 50:21
Temubaako kye mutya. Nja kubalabiriranga mmwe, n'abaana bammwe abato.” Bw'atyo n'abagumya n'ebigambo eby'ekisa.
Explore ENTANDIKWA 50:21
4
ENTANDIKWA 50:17
yatugamba tukusabe nti: ‘Sonyiwa omusango n'ekibi kya baganda bo, kubanga kye baakukola kibi nnyo.’ Era kaakano tukwegayiridde, tusonyiwe ekibi kye twakola, ffe abaweereza ba Katonda wa kitaawo.” Yosefu n'akaaba amaziga bwe baamugamba ebyo.
Explore ENTANDIKWA 50:17
5
ENTANDIKWA 50:24
Yosefu n'agamba baganda be nti: “Ndi kumpi okufa, naye Katonda talirema kubalabirira mmwe n'okubaggya mu nsi eno, okubatwala mu nsi gye yalayirira Aburahamu ne Yisaaka ne Yakobo.”
Explore ENTANDIKWA 50:24
6
ENTANDIKWA 50:25
Awo Yosefu n'alayiza abaana ba Yisirayeli ng'abagamba nti: “Katonda talirema kubalabirira, era mutwalanga amagumba gange okugaggya mu nsi eno.”
Explore ENTANDIKWA 50:25
7
ENTANDIKWA 50:26
Bw'atyo Yosefu n'afa, ng'awezezza emyaka kikumi mu kkumi. Ne bamukaza, ne bamuteeka mu ssanduuko mu Misiri.
Explore ENTANDIKWA 50:26
Home
Bible
Plans
Videos