Omukazi bwe yalaba nga tasobodde kwekweka, n'ajja ng'akankana, n'afukamira awali Yesu, n'amutegeeza ng'abantu bonna bawulira, ensonga kye yavudde amukwatako, era nga bwe yawonye amangwago. Yesu n'amugamba nti: “Muwala, owonye olw'okukkiriza kwo. Genda mirembe.”