Olubereberye 17:12-13
Olubereberye 17:12-13 LBR
Buli mwana omulenzi anaazaalibwanga mu maka gammwe anaakomolwanga ng'awezezza ennaku munaana. Kino kitwaliramu abaddu abaazaalirwa mu nnyumba zammwe n'abo abagulibwa obugulibwa n'ebintu okuva mu bannamawanga. Buli anaazaalirwanga mu maka gammwe, na buli gwe mugula, anaakomolebwanga, era ako ke kanaabanga akabonero ku mubiri gwammwe, ak'endagaano ey'olubeerera gye nkoze nammwe.