Olubereberye 18
18
Ibulayimu asuubizibwa omwana
1Mukama n'amulabikira Ibulayimu mu ttuntu, bwe yali ng'atudde mu mulyango gw'eweema ye, awali emivule gy'e Mamule;#Lub 13:18 2n'ayimusa amaaso ge n'alengera abasajja basatu nga bayimiridde; n'adduka mbiro okubasisinkana, ne yeeyala ku ttaka,#Lub 19:1, Beb 13:2 3n'ayogera nti, “Bakama bange, bwe mulaba nga nsaanidde, mbeegayiridde mukyameko mu maka gange, temumpitako. 4Ka baleete amazzi, munaabe ebigere, muwummulireko mu kisiikirize ky'omuti,#Lub 19:2; 43:24, Luk 7:44, Yok 13:14, 1 Tim 5:10 5nange nga bwe ndeeta akamere, mulyeko, muddemu amaanyi; kubanga mutuuse mu nnyumba y'omuddu wammwe.” Ne boogera nti, “Kola bw'otyo, nga bw'oyogedde.” 6Ibulayimu n'ayanguwa n'ayingira mu weema eri Saala n'ayogera nti, “Teekateeka mangu ebigero bisatu eby'obutta obugoye, ofumbe emmere.” 7Ibulayimu n'adduka mbiro n'agenda mu kiraalo, n'alondamu ennyana eŋŋonvu ennungi, n'agiwa omuddu we agitte agifumbe mangu. 8Ibulayimu n'addira omuzigo, n'amata, n'ennyana gy'afumbye, n'abiteeka mu maaso gaabwe; n'ayimirira ku mabbali gaabwe wansi w'omuti, ne balya. 9Ne bamubuuza nti, “Ali ludda wa Saala mukazi wo?” N'addamu nti, “Ali mu weema.” 10Omu kubo n'amugamba nti, “Omwaka ogujja mukiseera nga kino, ŋŋenda kukomawo, era Saala mukazi wo aliba azadde omwana ow'obulenzi.” Saala yali munda mu weema, n'awulira.#Lub 21:2, 2 Bassek 4:16, Bar 9:9 11Ibulayimu ne Saala baali bakaddiye nnyo; so nga Saala takyabeera ng'empisa ey'abakazi bw'eba.#Lub 17:17, Bar 4:19, Beb 11:11,12 12Saala n'aseka munda ye, ng'ayogera nti, “Nze akaddiye bwenti, era ne baze naye ng'akaddiye, nkyasobola okufuna essanyu eryo ery'obufumbo?”#Luk 1:18, 1 Peet 3:6 13Mukama n'agamba Ibulayimu nti, “Lwaki Saala asese ng'agamba nti, ‘Mazima ndizaala omwana nga nkaddiye?’ 14Waliwo ekirema Mukama? Nga bwe n'agambye, ndikomawo mu kiseera nga kino, omwaka ogujja era Saala aliba azadde omwana ow'obulenzi.”#Yob 42:2, Yer 32:17, Zek 8:6, Mat 19:16, Luk 1:37, Bar 4:21; 9:9 15Saala n'alyoka yeegaana, ng'ayogera nti, “Sisese;” kubanga yatya. N'ayogera nti, “Nedda; naye okuseka osese.”
Ibulayimu awolereza Sodoma
16Abasajja ne basituka ne bavaawo, ne bagenda mu kifo we bayinza okulengerera Sodoma. Ibulayimu nabawerekerako. 17Mukama n'ayogera nti, “Sijja kukisa Ibulayimu kye ŋŋenda kukola;#Zab 25:14, Am 3:7, Yok 15:15 18kubanga Ibulayimu agenda kuvaamu eggwanga eddene, ery'amaanyi, era mu ye, amawanga gonna ag'omu nsi mwe galiweerwa omukisa.#Lub 12:3 19Kubanga kyennava mmulonda, alyoke ayigirize abaana be n'abazzukulu, okukwatanga n'okugonderanga ebiragiro byange, nga bakola ebituufu n'eby'amazima, ndyoke ntuukirize bye namusuubiza.”#Ma 4:9, Yos 24:15 20Mukama n'ayogera nti, “Kubanga okwemulugunya olw'obubi obungi obuli mu Sodoma ne Ggomola kunene nnyo;#Lub 4:10; 19:13, Yak 4:5 21kaakano nnakka ndabe nga bakolera ddala ng'okw'emulugunya okwo okwantuukako bwe kuli, era oba si bwe kityo, naamanya.”#Lub 11:5, Kuv 3:8
22Abasajja ababiri kubo ne bavaayo, ne bagenda e Sodoma; naye Ibulayimu n'asigala ng'ayimiridde mu maaso ga Mukama.#Lub 19:1, Zab 106:23 23Ibulayimu n'asembera, n'abuuza nti, “Olizikiriza abatuukirivu awamu n'ababi?#Lub 20:4, Kubal 16:22, 2 Sam 24:17 24Singa mu kibuga mulimu abatuukirivu ataano (50); era onookizikiriza n'otokisonyiwa ku bwa batuukirivu abo ataano (50) abakirimu? 25Toyinza kukola ekyo, okutta abatuukirivu awamu n'ababi. Ddala toyinza kubonereza batuukirivu awamu n'ababi. Omulamuzi w'ensi zonna talikola bya butuukirivu?”#Yob 8:3,20; 34:10, Zab 58:11, Bar 3:5,6 26Mukama n'ayogera nti, “Bwe nnaalaba mu kibuga Sodoma abatuukirivu ataano (50), nja kusonyiwa ekifo kyonna ku lwabwe.”#Yer 5:1, Ez 22:30, Mat 24:22 27Ibulayimu n'addamu n'ayogera nti, “Nsonyiwa, nze enfuufu obufuufu n'evvu, okwetantala okwogera naawe Mukama afuga byonna.#Luk 18:1 28Singa ku batuukirivu ataano (50) kunaabulako abataano; era onoozikiriza ekibuga kyonna olw'abataano abo ababulako?” N'addamu nti, “sijja kukizikiriza bwe nnaalabamu ana mu abataano (45).” 29Ibulayimu n'ayogera naye nate nti, “Singa munaabamu ana (40)?” Mukama n'addamu nti, “Siikole bwe ntyo ku lw'abo ana (40).” 30Ibulayimu n'addamu n'ayogera nti, “Nkwegayiridde, Mukama tonsunguwalira, kanjogere nate, singa munaalabikamu asatu (30)?” Mukama n'addamu nti, “Siikole bwe ntyo bwe nnaalabamu asatu (30).” 31Ibulayimu n'agamba nti, “ Nsonyiwa okwetantala okwogera naawe nate, Afuga byonna. Singa munaasangibwamu abiri (20).” Mukama n'addamu nti, “Sijja kukizikiriza olw'abo abiri (20).” 32Ibulayimu n'agamba nti, “Tonsunguwalira, kanjogere nate omulundi guno gwokka. Singa munaalabikamu ekkumi (10).” N'addamu nti, “ Sijja kukizikiriza olw'abo ekkumi (10).”#Balam 6:39 33Mukama bwe yamala okwogera ne Ibulayimu n'agenda, ne Ibulayimu n'addayo ewuwe.
Currently Selected:
Olubereberye 18: LBR
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: