Olubereberye 39:7-9
Olubereberye 39:7-9 LBR
Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo, omukazi wa mukama we n'atunuulira Yusufu; n'ayogera nti, “Weebake nange.” Naye n'agaana, n'agamba omukazi wa mukama we nti, “Laba, mukama wange tamanyi ebiri nange mu nnyumba, era yateeka byonna by'alina mu mukono gwange; tewali ansinga nze obukulu mu nnyumba muno; so teyasigaza kintu obutakimpa nze, wabula ggwe, kubanga oli mukazi we; kale nnyinza ntya okwonoona, okwenkanidde wano, n'okusobya ku Katonda?”