Lukka 22
22
Okubonyaabonyezebwa n'okuttibwa kwa Yesu
(22:1—23:56)
Olukwe olw'okutta Yesu
(Mat 26:1-5, Mak 14:1-2, Yok 11:45-53)
1Awo embaga ey'emigaati egitazimbulukusiddwa eyitibwa Okuyitako yali eneetera okutuuka.#Mat 26:1-5, Mak 14:1,2 2Bakabona abakulu n'abawandiisi ne basala amagezi bwe banaamutta; kubanga baali batya abantu.#Luk 20:19
Yuda akkiriza okulya mu Yesu olukwe
(Mat 26:14-16, Mak 14:10-11)
3 #
Mat 26:14-16, Mak 14:10,11 Awo Setaani n'ayingira mu Yuda ayitibwa Isukalyoti eyali omu ku bayigirizwa ekkumi n'ababiri (12).#Yok 13:2,27 4N'agenda, n'ateesa ne bakabona abakulu, n'abaami ne ba sserikale nga bw'anaawaayo Yesu gyebali. 5Ne basanyuka, era ne balagaana okumuwa effeeza. 6N'akkiriza era n'anoonya ebbanga mw'anaamuweerayo gyebali awatali kibiina.
Yesu ategeka okulya Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako
(Mat 26:17-25, Mak 14:1-2, Yok 13:21-30)
7 #
Mat 26:17-29, Mak 14:12-25 Awo olunaku olw'Embaga eriirwako emigaati egitazimbulukusiddwa ne lutuuka, olugwanidde okusalirwako endiga ey'Okuyitako.#Kuv 12:18-20 8Yesu n'atuma Peetero ne Yokaana ng'agamba nti, “Mugende mututegekere Embaga ejjuukirirwako Okuyitako tugirye.” 9Ne bamubuuza nti, “Oyagala tugitegekere wa?” 10N'abagamba nti, “Laba, bwe munaaba muyingidde mu kibuga munaasisinkana omuntu eyeetisse ensuwa y'amazzi; mumugoberere okutuuka mu nnyumba mw'anaayingira. 11Munaagamba nnyini nnyumba nti Omuyigiriza akugambye nti, Ekisenge ky'abagenyi kiruwa, mwe nnaaliira Okuyitako awamu n'abayigirizwa bange? 12Era oyo anaabalaga ennyumba ennene eya waggulu etimbiddwa: mutegekere omwo.” 13Awo ne bagenda, ne balaba nga bw'abagabye, ne bategeka Okuyitako.#Luk 19:32
Eky'ekiro kya Mukama Waffe eky'enkomerero
(Mat 26:26-30, Mak 14:22-26, 1 Kol 11:23-25)
14Awo ekiseera bwe kyatuuka, Yesu n'atuula ku mmere, okulya awamu n'abatume be. 15N'abagamba nti, “Nneegombye nnyo okuliira awamu nammwe Okuyitako kuno nga sinnabonyaabonyezebwa: 16kubanga mbagamba nti Sirigirya n'akatono, okutuusa lwerituukirira mu bwakabaka bwa Katonda.” #Luk 13:29 17N'addira ekikompe, ne yeebaza n'agamba nti, “ Mutoole kino mugabane mwekka na mwekka: 18kubanga mbagamba nti Okusooka kaakano sirinywa ku bibala ku muzabbibu, okutuusa obwakabaka bwa Katonda lwe bulijja.” 19N'addira omugaati ne yeebaza, n'agumenyamu, n'abawa ng'agamba nti, “ Guno gwe mubiri gwange oguweebwayo ku lwammwe: mukolenga bwe mutyo okunjijukiranga nze.” #1 Kol 11:23-25, Bik 27:35 20Era n'ekikompe bwatyo bwe baamala okulya, ng'agamba nti, “ Ekikompe kino ye ndagaano empya mu musaayi gwange, oguyiika ku lwammwe. #Kuv 24:8, Yer 31:31, Zek 9:11 21Naye, laba, oyo agenda okundyamu olukwe ali wamu nange ku mmeeza.#Yok 13:21,22 22Kubanga Omwana w'omuntu okugenda agenda, nga bwe kyalagirwa: naye zimusanze omuntu oyo amulyamu olukwe!” 23Ne batandika okwebuuzaganya bokka na bokka nti anaaba ani ku bo agenda okukola ekyo.
Empaka ku ani asinga obukulu
24Ne wabaawo n'empaka mu bo, nti ani ku bo alowoozebwa okuba omukulu.#Luk 9:46 25Yesu n'abagamba nti, “Bakabaka b'ab'amawanga babafuga, n'abo abalina obuyinza ku bo bayitibwa abakola obulungi.#Mat 20:25-27, Mak 10:42-44 26Naye mmwe si bwe mutyo; naye omukulu mu mmwe abeere ng'omuto; n'oyo akulembera, abe ng'aweereza. 27Kubanga omukulu yaani, atuula ku mmere, oba aweereza? Si oyo atuula ku mmere? Naye nze wakati mu mmwe nninga aweereza.#Yok 13:4-14 28Naye mmwe muumuno abaagumiikirizanga awamu nange mu kukemebwa kwange; 29nange mbaterekera obwakabaka, nga Kitange bwe yanterekera nze,#Luk 12:31 30mulyoke mulye era munywere ku mmeeza yange mu bwakabaka bwange; era mulituula ku ntebe ez'ekitiibwa, nga musalira emisango ebika ekkumi n'ebibiri eby'abaisiraeri.” #Mat 19:28
Yesu alanga nti Peetero anaamwegaana
(Mat 26:31-35, Mak 14:27-31, Yok 13:36-38)
31 #
Mat 26:31-35, Mak 14:27-31, Yok 13:36-38 “Simooni, Simooni, laba, Setaani yeegayiridde okubawewa mmwe ng'eŋŋaano: #
2 Kol 2:11, Am 9:9 32naye nze nkusabidde, okukkiriza kwo kuleme okuddirira: naawe bw'omalanga okukyuka, onywezanga baganda bo.”#Yok 17:11,15,20, Zab 51:13 33Peetero n'amugamba nti, “ Mukama wange, nneeteeseteese okugenda naawe ne mu kkomera ne mu kufa.” 34Yesu n'agamba nti, “ Nkubuulira ggwe, Peetero, olwaleero enkoko eneeba tennakookolima, ononneegaana emirundi esatu nti tommanyi.”
Ebyawandiikibwa bisaana okutuukirizibwa
35N'abagamba nti, “Bwe nnabatuma nga temulina nsawo, newakubadde olukoba, newakubadde engatto, mwaliko kye mwetaaga?” Ne bagamba nti, “Nedda.”#Luk 9:3; 10:4 36N'abagamba nti, “ Naye kaakano, alina ensawo, agitwale, n'ow'olukoba bw'atyo: era atalina kitala atunde olugoye lwe akigule. 37Kubanga mbagamba nti kino ekyawandiikibwa kigwanidde okutuukirizibwa ku nze nti Yabalirwa wamu n'abasobya: Kubanga ekiŋŋwanira kirina okutuukirira” #Is 53:12, Luk 22:52 38Abayigirizwa ne bagamba nti, “Mukama waffe, laba, waliwo ebitala bibiri biibino.” N'abagamba nti, “ Binaamala.”
Yesu asaba ku lusozi olwa Zeyituuni
(Mat 26:36-46, Mak 14:32-42)
39 #
Mat 26:30,36-46, Mak 14:26,32-42 Awo Yesu n'afuluma n'agenda ku lusozi olwa Zeyituuni, ng'empisa ye bwe yali; n'abayigirizwa be nabo ne bamugoberera.#Luk 21:37, Yok 18:1 40Awo bwe yatuukayo, n'abagamba nti, “Musabe muleme okuyingira mu kukemebwa.” 41Ye n'abaawukanako ebbanga ng'awakasukibwa ejjinja; n'afukamira n'asaba, 42ng'agamba nti, “ Kitange, bw'oyagala, nziggyaako ekikompe kino: naye si nga nze bwe njagala, naye ky'oyagala ggwe kikolebwe.” #Mat 6:10 43Malayika n'amulabikira ng'ava mu ggulu ng'amussamu amaanyi.#1 Bassek 19:5, Yok 12:29 44N'afuba ng'alumwa ne yeeyongera okusaba ennyo: entuuyo ze ne ziba ng'amatondo g'omusaayi, nga gatonnya wansi. 45Bwe yagolokoka mu kusaba, n'ajja eri abayigirizwa be, n'abasanga nga beebase olw'ennaku, 46n'abagamba nti, “ Ekibeebasizza ki? Mugolokoke musabe, muleme okuyingira mu kukemebwa.”
Okukwatibwa kwa Yesu
(Mat 26:27-56, Mak 14:43-50, Yok 18:3-11)
47Yesu yali akyayogera, laba, ekibiina n'oyo ayitibwa Yuda, omu ku abo ekkumi n'ababiri (12), ng'abakulembedde, n'asemberera Yesu okumunywegera.#Mat 26:47-56, Mak 14:43-49, Yok 18:2-11 48Naye Yesu n'amugamba nti, “ Yuda, Omwana w'omuntu omulyamu olukwe ng'omunywegera?” 49N'abo be yali nabo bwe baalaba ekigenda okubaawo, ne bagamba nti, “ Mukama waffe, tuteme n'ebitala?” 50N'omu ku abo n'atema omuddu wa kabona asinga obukulu n'amusalako okutu kwe okwa ddyo. 51Naye Yesu n'addamu n'agamba nti, “ Koma ku ekyo kyokka.” N'akoma ku kutu kwe n'amuwonya. 52Yesu n'agamba bakabona abakulu, n'abaami b'omu Yeekaalu, n'abakadde, abajja okumukwata nti, “ Munjijiridde ng'omunyazi, nga mulina n'ebitala n'emiggo?#Luk 22:37 53Bwe nnabanga nammwe bulijjo mu Yeekaalu, temwangololerako mukono gyammwe, naye kino kye kiseera kyammwe, n'obuyinza bw'ekizikiza.”#Yok 7:30; 8:20, Bak 1:13
Peetero yeegaana Yesu
(Mat 26:57-58,69-75, Mak 14:53-54,66-72, Yok 18:12-18,25-27)
54Ne bamukwata ne bamutwala, ne bamuyingiza mu nnyumba ya kabona asinga obukulu. Naye Peetero n'agoberera ng'ava walako.#Mat 26:57,58,69-75, Mak 14:53,54,66-72, Yok 18:12-18,25-27 55Awo bwe baali nga bamaze okukuma omuliro mu luggya wakati, nga batudde wamu, Peetero n'atuula wakati mu bo. 56Awo omuwala omu bwe yamulaba ng'attudde awalaba, n'amwekaliriza, n'agamba nti, “ N'ono yabadde naye.” 57Naye ne yeegaana ng'agamba nti, “ Omukazi, omuntu oyo simumanyi.” 58Ekiseera bwe kyayitawo, omulala n'amulaba n'agamba nti, “ Naawe oli omu ku bo.” Naye Peetero n'agamba nti, “Omuntu, si nze.” 59Waali wayiseewo ekiseera ng'essaawa emu, omulala n'akaliriza ng'agamba nti, “ Mazima n'ono yabadde wamu naye, kubanga naye Mugaliraaya.” 60Naye Peetero n'agamba nti, “Omuntu, simanyi ky'oyogera.” Amangwago, bwe yali ng'akyayogera, enkoko n'ekookolima. 61Awo Mukama waffe n'akyuka, n'atunuulira Peetero. Peetero n'ajjukira ekigambo kya Mukama waffe, bwe yamugambye nti, “ Leero enkoko eneeba tennakookolima, ononneegaana emirundi esatu.” #Luk 22:34 62N'afuluma ebweru, n'akaaba nnyo amaziga.
Yesu abonyaabonyezebwa
(Mat 26:67-68, Mak 14:65)
63Awo abasajja abaali bakutte Yesu ne bamuduulira nga bamukuba.#Mat 26:67,68, Mak 14:65 64Ne bamubikka mu maaso, ne bamubuuza, nga bagamba nti, “ Lagula: ani akukubye?” 65Ne bamwogerako n'ebirala bingi nga bamuvuma.
Yesu mu maaso g'olukiiko
(Mat 26:59-66, Mak 14:55-64, Yok 18:19-24)
66Awo obudde bwe bwakya, abakadde b'abantu ne bakuŋŋaana, ne bakabona abakulu era n'abawandiisi; ne batwala Yesu mu lukiiko lwabwe, nga bagamba nti, #Mat 26:59-66, Mak 14:55-64 67“Oba nga ggwe Kristo, tubuulire.” Naye n'abagamba nti, “ Ne bwe nnaababuulira, temujja kukkiriza n'akatono;#Yok 3:12; 8:45; 10:24 68ne bwe nnaababuuza, temujja kuddamu n'akatono. 69Naye okusooka kaakano Omwana w'omuntu agenda kutuula ku mukono ogwa ddyo ogw'amaanyi ga Katonda.” #Dan 7:13, Zab 110:1 70Bonna ne bagamba nti, “ Kale ggwe oli Mwana wa Katonda?” Yesu n'abagamba nti, “ Nga bwe mwogedde nze nzuuyo.” 71Ne bagamba nti, “ Twetaagira ki ate abajulirwa? Kubanga ffe twewuliridde okuva mu kamwa ke ye.”
Currently Selected:
Lukka 22: LBR
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: