YouVersion Logo
Search Icon

Lukka 3:4-6

Lukka 3:4-6 EEEE

nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo eky’ebigambo bya nnabbi Isaaya nti, “Eddoboozi ly’oyo ayogerera mu ddungu nti, Mulongoose ekkubo lya Mukama, Muluŋŋamye amakubo ge; Buli kiwonvu kirijjuzibwa, na buli lusozi n’akasozi birisendebwa, na buli ekyakyama kirigololwa, n’obukubo obulimu obugulumugulumu bulifuuka enguudo ez’omuseetwe. Abalina omubiri bonna baliraba obulokozi bwa Katonda.”