Lukka 4:9-12
Lukka 4:9-12 EEEE
Ate Setaani n’amutwala mu Yerusaalemi, n’amulinnyisa waggulu ku kasolya ka Yeekaalu awasingira ddala obutumbiivu, n’amugamba nti, “Obanga oli Mwana wa Katonda, buuka weesuule wansi. Kubanga kyawandiikibwa nti, “ ‘Katonda aliragira bamalayika be bakukuume. Era balikuwanirira mu mikono gyabwe, oleme okwerumya nga weekonye ekigere kyo ku jjinja.’ ” Yesu n’addamu nti, “Kyawandiikibwa nti, ‘Tokemanga Mukama Katonda wo.’ ”