YouVersion Logo
Search Icon

Lukka 7

7
Okukkiriza kw’Omuserikale Omuruumi
1 Awo Yesu bwe yamala okutegeeza abantu ebigambo ebyo byonna n’ayingira mu Kaperunawumu. 2Mu kiseera ekyo, omukulu w’ekitongole ky’abaserikale ekikumi, yalina omuddu we gwe yali ayagala ennyo, yali mulwadde nnyo ng’ali kumpi n’okufa. 3Omukulu w’ekitongole oyo bwe yawulira ebifa ku Yesu, n’atuma abamu ku bakulembeze b’Abayudaaya eri Yesu bamusabe ajje awonye omuddu we. 4Bwe baatuuka eri Yesu ne bamwegayirira nnyo nga bagamba nti, “Omusajja ono asaanira okuyambibwa nga bw’akusabye, 5kubanga ayagala nnyo eggwanga lyaffe, era ye yatuzimbira ne kkuŋŋaaniro lyaffe!” 6Bw’atyo Yesu n’agenda nabo.
Naye Yesu bwe yali akyali mu kkubo nga tannatuuka ku nnyumba, omukulu w’ekitongole n’atuma mikwano gye eri Yesu ng’agamba nti, “Mukama wange, teweeteganya bw’otyo, kubanga nze sisaanira kukusembeza mu nju yange. 7 Era kyenavudde nnema okujja gy’oli nze nzennyini. Naye yogera bwogezi ekigambo, omuweereza wange anaawona! 8Kubanga nange nnina abakulu abantwala, ate waliwo n’abali wansi wange be nninako obuyinza. Bwe ŋŋamba ono nti, ‘Genda,’ agenda, n’omulala nti, ‘Jjangu,’ ajja; n’omuddu wange nti, ‘Kola kino,’ akikola.”
9Yesu bwe yawulira ebigambo ebyo n’amwewuunya nnyo, n’akyukira ekibiina ky’abantu abaali bamugoberera n’agamba nti, “Mbagamba nti sirabanga kukkiriza kunene nga kuno, wadde mu Isirayiri.” 10Awo omukulu w’ekitongole be yatuma eri Yesu bwe baddayo mu nnyumba ye, baasanga omuddu awonye.
Yesu Azuukiza Mutabani wa Nnamwandu
11Awo ku lunaku olwaddirira, Yesu n’agenda n’abayigirizwa be n’ekibiina kinene ne kimugoberera mu kibuga ekiyitibwa Nayini. 12Bwe yali asemberera omulyango gw’ekibuga, laba, abantu ne bafuluma mu kibuga nga beettisse omulambo gw’omuvubuka eyali mutabani w’omukazi nnamwandu, ate nga ye mwana we yekka. Ekibiina ky’abantu abaali bava mu kibuga baali bangi nnyo. 13 Awo Mukama waffe bwe yalaba nnamwandu n’amusaasira, n’amugamba nti, “Tokaaba.”
14 N’asemberera essanduuko, abaali bagisitudde ne bayimirira, Yesu n’ayogera nti, “Omuvubuka, nkulagira nti ggolokoka!” 15Eyali afudde n’atuula era n’atandika okwogera. Yesu n’amuddiza nnyina.
16 Buli omu n’ajjula entiisa, ne batendereza Katonda nga bagamba nti, “Nnabbi ow’amaanyi atulabikidde, era Katonda akyalidde abantu be.” 17 Ebigambo ebyo ne bibuna Buyudaaya yonna n’okwetooloola emiriraano gyayo.
Yesu ne Yokaana Omubatiza
18 Awo abayigirizwa ba Yokaana Omubatiza ne bategeeza Yokaana ebintu ebyo byonna. Yokaana n’ayita abayigirizwa be babiri, 19n’abatuma eri Mukama waffe okumubuuza nti, “Ggwe wuuyo gwe tusuubira okujja, oba tulindirireyo omulala?”
20Abayigirizwa ba Yokaana bwe baatuuka eri Yesu, ne bamutegeeza nti, “Yokaana Omubatiza atutumye okukubuuza nti, Ggwe wuuyo ajja oba tulindirirayo omulala?”
21 Mu kiseera ekyo Yesu n’awonya endwadde nnyingi eza buli ngeri: n’abalema, n’abaaliko emyoyo emibi, n’azibula n’abazibe b’amaaso. 22 Abaatumibwa n’abaddamu nti, “Muddeeyo eri Yokaana mumutegeeze byonna bye muwulidde ne bye mulabye. Abazibe b’amaaso bazibulwa amaaso ne balaba, n’abalema batambula, n’abagenge#7:22 kiyinza okuba endwadde endala ez’olususu balongoosebwa, n’abaggavu b’amatu gagguka ne bawulira, n’abafu bazuukizibwa, era n’abaavu babuulirwa Enjiri. 23Era alina omukisa oyo atanneesittalako.”
24Awo ababaka ba Yokaana bwe baagenda, Yesu n’abuulira ekibiina ebikwata ku Yokaana. N’ababuuza nti, “Bwe mwagenda mu ddungu, mwagenderera kulaba ki? Olumuli olunyeenyezebwa n’empewo? 25Naye mwagenderera kulaba ki? Omusajja ayambadde engoye ezinekaaneka? Laba abambadde engoye ezinekaaneka, nga babeera mu bulamu bwa kikungu era babeera mu mbiri. 26 Naye mwagenderera kulaba ki? Nnabbi? Weewaawo ka mbabuulire, oyo asinga ne nnabbi. 27 Y’oyo ebyawandiikibwa gwe byogerako nti,
“ ‘Laba, ntuma omubaka wange okukukulembera,
y’alikuteekerateekera ekkubo lyo mu maaso go.’ ”
28 “Mbagamba nti, mu bantu bonna abaali bazaaliddwa abakazi, tewali mukulu wa kitiibwa kukira Yokaana, naye ate oyo asembayo mu bwakabaka bwa Katonda asinga Yokaana ekitiibwa.”
29 Abantu bonna, awamu n’abasolooza b’omusolo, bwe baawulira ebigambo bya Yesu ebyo, ne batendereza Katonda, kubanga baali babatiziddwa mu kubatizibwa kwa Yokaana. 30 Naye Abafalisaayo n’abayigiriza b’amateeka ne bagaana ebyo Katonda bye yabategekera, kubanga tebaabatizibwa Yokaana.
Yesu Anenya ab’omu Biseera bye
31Awo Yesu n’abuuza nti, “Abantu ab’omulembe guno mbageraageranye na ki? Bafaanana batya? 32Bafaanana ng’abaana abato abazannya emizannyo gyabwe mu katale, nga bagambagana nti,
“ ‘Bwe twabafuuyira omulere,
temwazina,
Bwe twayimba oluyimba olw’okukungubaga,
temwakungubaga.’
33 Kubanga Yokaana Omubatiza bwe yajja teyalyanga mmere wadde okunywa omwenge, ne mugamba nti, ‘Aliko dayimooni!’ 34 Omwana w’Omuntu azze ng’alya emmere era ng’anywa ne mugamba nti, ‘Laba wa mululu era mutamiivu, mukwano gw’abasolooza b’omusolo n’aboonoonyi!’ 35Naye amagezi geeragira mu butuukirivu olw’abaana baago bonna.”
Omukazi Alina Ebibi Asiiga Yesu Amafuta ag’Akaloosa
36Awo omu ku Bafalisaayo n’ayita Yesu ku kijjulo, Yesu n’ayingira mu nnyumba, n’atuula ku mmeeza. 37Awo omukazi ow’omu kibuga ekyo nga mwonoonyi, eyali ategedde nga Yesu ali mu nju eyo ey’Omufalisaayo, n’aleeta eccupa y’amafuta ag’akaloosa. 38N’ayimirira awali Yesu, n’akaaba, amaziga ne gatonnya ku bigere bya Yesu ne bitoba. Omukazi n’abisiimuuza enviiri ze, era n’abinywegera; n’abifukako amafuta ag’akaloosa.
39 Naye Omufalisaayo eyayita Yesu, ebyo bwe yabiraba, n’agamba munda ye nti, “Singa omuntu ono abadde nnabbi, yanditegedde omukazi amukwatako kyali era nga bw’ali omwonoonyi!”
40Awo Yesu n’amugamba nti, “Simooni, nnina kye njagala okukubuulira.” Simooni n’addamu nti, “Omuyigiriza, mbuulira.”
41 “Waaliwo abantu babiri, omuwozi w’ensimbi be yali abanja. Omu yali amubanja ddinaali ebikumi bitaano, n’omulala ddinaali amakumi ataano. 42Naye ku bombi nga tekuliiko asobola kusasula bbanja lye. Eyali ababanja kwe kubasonyiwa. Kale, ku bombi aluwa alisinga okumwagala?”
43Simooni n’addamu nti, “Ndowooza oyo gwe yasonyiwa ebbanja erisingako obunene.” Yesu n’amugamba nti, “Olamudde bulungi.”
44 N’alyoka akyukira omukazi n’agamba Simooni nti, “Omukazi ono omulaba? Bwe nayingidde mu nnyumba yo, tewampadde mazzi ga kunaaba ku bigere byange. Naye abinaazizza n’amaziga ge n’abisiimuula n’enviiri ze. 45 Tewannyanirizza na kunnywegera, naye anywegedde ebigere byange emirundi mingi okuva lwe nayingidde. 46 Tewansiize mafuta ku mutwe gwange, naye ye asiize ebigere byange amafuta ag’akaloosa. 47Noolwekyo nkutegeeza nti omukazi ono asonyiyiddwa ebibi bye ebingi kubanga okwagala kwe kungi, naye oyo asonyiyibwa ebitono n’okwagala kwe kuba kutono.”
48 Awo Yesu n’agamba omukazi nti, “Osonyiyiddwa ebibi byo.”
49Abo abaali ne Yesu ku mmeza ne beebuuzaganya nti, “Ono ye ani asonyiwa n’ebibi?”
50 Yesu n’agamba omukazi nti, “Okukkiriza kwo kukulokodde, genda mirembe.”

Currently Selected:

Lukka 7: EEEE

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in