Olubereberye 22
22
1 #
Beb 11:17-19, Yak 1:12 Awo oluvannyuma lw'ebyo, Katonda n'akema Ibulayimu, n'amugamba nti Ibulayimu; n'ayogera nti Nze nzuuno. 2#2 Byom 3:1N'ayogera nti Twala kaakano omwana wo, omwana wo omu, gw'oyagala, ye Isaaka, ogende mu nsi Moliya; omuweere eyo okuba ekiweebwayo ekyokebwa ku lumu ku nsozi lwe ndikugambako. 3Ibulayimu n'agolokoka enkya mu makya, n'assa amatandiiko ku ndogoyi ye, n'atwala babiri ku bavubuka be, ne Isaaka omwana we; n'ayasa enku ez'ekiweebwayo ekyokebwa, n'agolokoka, n'agenda mu kifo Katonda kye yamugambako. 4Ku lunaku olw'okusatu Ibulayimu n'ayimusa amaaso ge, n'alengera ekifo. 5Ibulayimu n'agamba abavubuka be nti Mubeere mmwe wano n'endogoyi, nange n'omulenzi tunaagenda wali; ne tusinza, ne tudda gye muli. 6#Yok 19:17Ibulayimu n'atwala enku ez'ekiweebwayo ekyokebwa, n'azitikka Isaaka omwana we; n'atwala omuliro n'akambe mu ngalo ze; ne bagenda bombi wamu. 7Isaaka n'agamba Ibulayimu kitaawe nti Kitange: n'ayogera nti Nze nzuuno, mwana wange. N'ayogera nti Laba, omuliro n'enku (biibino): naye guluwa omwana gw'endiga ogw'ekiweebwayo ekyokebwa? 8#Yok 1:29,36, 1 Peet 1:19Ibulayimu n'ayogera nti Katonda aneefunira omwana gw'endiga ogw'ekiweebwayo ekyokebwa, mwana wange: kale ne bagenda bombi. 9#Yak 2:21Ne batuuka mu kifo Katonda we yamugamba; Ibulayimu n'azimbira eyo ekyoto, n'atindikira enku, n'asiba Isaaka omwana we, n'amugalamiza ku kyoto, ku nku. 10Ibulayimu n'agolola omukono gwe, n'addira akambe okutta omwana we. 11Ne malayika wa Mukama n'amukoowoola ng'ayima mu ggulu, n'ayogera nti Ibulayimu, Ibulayimu: n'ayogera nti nze nzuuno. 12#Lub 26:5, 1 Sam 15:22, Mi 6:6,8N'ayogera nti Tossa mukono gwo ku mulenzi, so tomukolako kantu: kubanga kaakano ntegedde ng'otya Katonda, kubanga tonnyimye mwana wo, omwana wo omu. 13Ibulayimu n'ayimusa amaaso ge n'atunula, era, laba, ennyuma we endiga ensajja, ng'ekwatiddwa mu kisaka n'amayembe gaayo: Ibulayimu n'agenda n'atwala endiga, n'agiwaayo okuba ekiweebwayo ekyokebwa mu kifo ky'omwana we. 14Ibulayimu n'atuuma ekifo kiri erinnya lyakyo Yakuwayire: nga bwe kyogerwa ne leero nti ku lusozi lwa Mukama kirirabwa. 15Ne malayika wa Mukama n'ayita Ibulayimu omulundi ogw'okubiri ng'ayima mu ggulu, 16#Zab 105:9, Luk 1:73, Beb 6:13n'ayogera nti Nneerayidde nzekka, bw'ayogera Mukama kubanga okoze bw'otyo, n'otonnyima mwana wo, omwana wo omu: 17#Lub 13:16; 15:5; 24:60, Yer 33:22, Beb 6:14okukuwa omukisa naakuwanga omukisa, n'okwongera naakwongerangako ezzadde lyo ng'emmunyeenye ez'omu ggulu, ng'omusenyu oguli ku ttale ly'ennyanja; era ezzadde lyo balirya omulyango ogw'abalabe baabwe; 18#Lub 12:3; 22:3; 26:5, Bag 3:8era mu zzadde lyo amawanga gonna ag'omu nsi mwe galiweerwa omukisa; kubanga owulidde eddoboozi lyange. 19Awo Ibulayimu n'addayo eri abavubuka be, ne bagolokoka ne bagenda bonna wamu e Beeruseba; Ibulayimu n'atuulanga mu Beeruseba.
20 #
Lub 11:29
Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo ne babuulira Ibulayimu nga boogera nti Laba, era Mirika naye yazaalira abaana muganda wo Nakoli; 21Uzi, omubereberye we, ne Buzi, muganda we, ne Kemweri, kitaawe wa Alamu; 22ne Kesedi, ne Kaazo, ne Pirudaasi, ne Yidulaafu, ne Bessweri. 23#Lub 24:15Bessweri n'azaala Lebbeeka: abo omunaana Mirika yabazaalira Nakoli, muganda wa Ibulayimu. 24N'omuzaana we, erinnya lye Lewuma, era naye n'azaala Teba, ne Gakamu, ne Takasi, ne Maaka.
Currently Selected:
Olubereberye 22: LUG68
Highlight
Share
Copy
![None](/_next/image?url=https%3A%2F%2Fimageproxy.youversionapistaging.com%2F58%2Fhttps%3A%2F%2Fweb-assets.youversion.com%2Fapp-icons%2Fen.png&w=128&q=75)
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.

: