YouVersion Logo
Search Icon

Yokaana 13

13
1 # Yok 7:30; 8:20; 15:13, Bag 2:20, 1 Yok 3:16 Naye embaga ey'Okuyitako yali nga tennatuuka, Yesu bwe yamanya ng'ekiseera kye kituuse okuva mu nsi muno okugenda eri Kitaawe, bwe yayagala ababe abali mu nsi, yabaagala okutuusa enkomerero. 2#Luk 22:3Bwe baali balya emmere ey'ekyeggulo Setaani nga yamaze dda okuweerera Yuda Isukalyoti omwana wa Simooni mu mutima gwe okumulyamu olukwe, 3#Yok 3:35; 16:28; 17:2Yesu bwe yamanya nga Kitaawe amuwadde byonna mu mukono gwe, era nga yava wa Katonda, ate ng'adda wa Katonda, 4#Mat 11:29; 20:28, Luk 12:37n'ava ku mmere, n'ayambulamu engoye ze; n'addira ekiremba, ne yeesiba ekimyu. 5N'alyoka afuka amazzi mu kibya, n'atanula okunaaza abayigirizwa ebigere n'okubisiimuuza ekiremba kye yali yeesibye. 6#1 Peet 5:3Awo n'ajja eri Simooni Peetero. Naye n'amugamba nti Mukama wange, ggwe onnaaza ebigere? 7Yesu n'addamu n'amugamba nti Kye nkola nze tokimanyi ggwe kaakano, naye olikitegeera luvannyuma. 8#Yok 13:12Peetero n'amugamba nti tonnaazenga bigere byange emirembe gyonna. Yesu n'amuddamu nti Bwe ssiikunaaze tossa kimu nange. 9Simooni Peetero n'amugamba nti Mukama wange, si bigere byange byokka, naye n'emikono n'omutwe. 10#Yok 15:3Yesu n'amugamba nti Anaazibwa omubiri taliiko kye yeetaaga wabula okunaaba ebigere byokka, naye yenna nga mulongoofu: nammwe muli balongoofu naye si mwenna. 11#Yok 6:64,70,71Kubanga yamumanya anaamulyamu olukwe; kyeyava ayogera nti Mwenna temuli balongoofu.
12Awo bwe yamala okubanaaza ebigere, n'ayambala engoye ze, n'atuula nate, n'abagamba nti Mutegedde kye mbakoze? 13#Mat 23:8,10Mmwe mumpita Muyigiriza era Mukama wammwe: era mwogera bulungi; kubanga bwe ndi. 14#Luk 22:27, 1 Tim 5:10Kale oba nga nze Mukama wammwe era Omuyigiriza mbanaazizza ebigere, era nammwe kibagwanira okunaazagananga ebigere. 15#Baf 2:5, Bak 3:13, 1 Peet 2:21Kubanga mbawadde ekyokulabirako, era nga bwe mbakoze nze, nammwe mukolenga bwe mutyo. 16#Mat 10:24Ddala ddala mbagamba nti Omuddu tasinga bukulu mukama we; so omutume tasinga bukulu oli eyamutuma. 17#Mat 7:24, Yak 1:25Bwe mubimanya ebyo, mulina omukisa bwe mubikola. 18#Zab 41:9Soogedde ku mmwe mwenna: nze mmanyi be nnalondamu: naye ekyawandiikibwa kituukirire nti Alya ku mmere yange ye annyimusiza ekisinziiro kye. 19#Yok 14:29Okusooka leero mbabuulira nga tekinnaba kubaawo, era ne bwe kiriba, mulyoke mukkirize nga nze nzuuyo. 20#Mat 10:40; 21:30, Mat 26:21-25, Mak 14:18-21, Luk 22:21-23Ddala ddala mbagamba nti Asembeza buli gwe ntuma, ng'asembezza nze: era asembeza nze ng'asembezezza oli eyantuma.
21 # Yok 12:27 Yesu bwe yamala okwogera bw'atyo, ne yeeraliikirira mu mwoyo, n'ategeeza, n'ayogera nti Ddala ddala mbagamba nti omu ku mmwe anandyamu olukwe. 22Abayigirizwa ne batunulaganako, nga babuusabuusa gw'ayogeddeko bw'ali. 23#Yok 19:26; 20:2; 21:7,20Waaliwo omu ku bayigirizwa be eyali agalamidde mu kifuba kya Yesu ku mmere, Yesu gwe yayagalanga. 24Awo Simooni Peetero n'awenya oyo, n'amugamba nti Tubuulire gw'ayogeddeko bw'ali. 25Ye bwe yagalamira mu kifuba kya Yesu, nga bwe yali, n'amugamba nti Mukama wange, ye ani? 26Awo Yesu n'addamu nti Gwe nnaakoleza ekitole ne nkimuwa ye wuuyo. Awo bwe yakoza ekitole, n'akitwala, n'akiwa Yuda omwana wa Simooni Isukalyoti. 27#Yok 13:2Bwe yamala okuweebwa ekitole, Setaani n'alyoka amuyingiramu. Awo Yesu n'amugamba nti Ky'okola, kola mangu. 28Naye ekigambo ekyo tewali muntu ku bo abaali batudde ku mmere eyakitegeera ekikimwogezza. 29#Yok 12:6Kubanga abalala baateerera nti kubanga Yuda ye yali akwata ensawo, Yesu kyeyava amugamba nti gula bye twetaaga eby'oku mbaga; oba awe abaavu ekintu. 30Awo bwe yamala okuweebwa ekitole, amangu ago n'afuluma ebweru; bwali nga buzibye.
31Awo bwe yamala okufuluma, Yesu n'agamba nti Kaakano Omwana w'omuntu agulumizibwa, ne Katonda agulumizibwa mu ye; 32#Yok 12:23; 17:1-5era Katonda alimugulumiza mu ye yennyini, era amangu ago anaamugulumiza. 33#Yok 7:33; 8:21Baana bange, ekiseera kitono nga nkyali nammwe. Mulinnoonya: era nga bwe nnagamba Abayudaaya nti Gye ŋŋenda nze mmwe temuyinza kujja, era nammwe bwe mbagamba kaakano. 34#Yok 15:12,13,17Etteeka eriggya mbawa nti Mwagalanenga; nga bwe nnabaagalanga mmwe, era nammwe mwagalanenga. 35Bonna kwe banaategeereranga nga muli bayigirizwa bange, bwe munaabanga n'okwagalana mwekka na mwekka.
36 # Yok 7:34; 21:18,19 # Mat 26:33-35, Mak 14:29-31, Luk 22:31-34 Simooni Peetero n'amugamba nti Mukama wange, ogenda wa? Yesu n'addamu nti Gye ŋŋenda, toyinza kungoberera kaakano; naye olingoberera gye bujja. 37Peetero n'amugamba nti Mukama wange, kiki ekindobera okukugoberera kaakano? N'awaayo obulamu bwange ku lulwo. 38Yesu n'addamu nti Onoowaayo obulamu bwo ku lwange? Ddala ddala nkugamba nti Enkoko teekookolime okutuusa lw'ononneegaana emirundi esatu.

Currently Selected:

Yokaana 13: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in