Yokaana 4
4
1 #
Yok 3:22,26 Awo Mukama waffe bwe yategeera nga Abafalisaayo bawulidde nti Yesu ayigiriza era nti abatiza bangi okukira Yokaana, 2#1 Kol 1:17(naye Yesu yennyini teyabatiza, wabula abayigirizwa be), 3n'ava mu Buyudaaya, n'agenda e Ggaliraaya nate. 4#Luk 9:52Era kyamugwanira okuyita mu Samaliya. 5#Lub 48:22, Yos 24:32Awo n'atuuka mu kibuga eky'e Samaliya kye bayita Sukali, ekiriraanye olusuku Yakobo lwe yawa omwana we Yusufu: 6era, mwalimu oluzzi lwa Yakobo. Awo Yesu yali akooye olugendo, n'amala gatuulirawo ku luzzi, obudde nga ssaawa mukaaga. 7Omukazi Omusamaliya n'ajja okusena amazzi: Yesu n'amugamba nti Mpa nnywe. 8Kubanga abayigirizwa be baali bagenze mu kibuga okugula emmere. 9#Luk 9:53Awo omukazi Omusamaliya n'amugamba nti Ggwe Omuyudaaya, kiki ekikusabya okunywa eri nze omukazi Omusamaliya? (Kubanga Abayudaaya nga tebatabagana na Basamaliya.) 10#Yok 7:38,39Yesu n'addamu n'amugamba nti Singa obadde omanyi ekirabo kya Katonda n'oyo akugamba nti Mpa nnywe bw'ali, ggwe wandimusabye, naye yandikuwadde amazzi amalamu. 11Omukazi n'amugamba nti Ssebo, tolina kya kusenya, n'oluzzi luwanvu: kale oggya wa amazzi ago amalamu? 12Ggwe oli mukulu okukira jjajjaffe Yakobo, eyatuwa oluzzi luno, eyanywangamu ye n'abaana be n'ensolo ze? 13#Yok 6:58Yesu n'addamu n'amugamba nti Buli muntu yenna anywa amazzi gano ennyonta erimuluma nate: 14#Yok 6:27,35, Yok 7:37-39naye anywa amazzi ago nze ge ndimuwa ennyonta terimulumira ddala emirembe gyonna; naye amazzi ge ndimuwa ganaafuukanga munda mu ye ensulo y'amazzi nga gakulukuta okutuuka ku bulamu obutaggwaawo. 15Omukazi n'amugamba nti Ssebo, mpa amazzi ago, ennyonta ereme okunnumanga, n'okukoma nkome okutambula olugendo luno lwonna okusenanga. 16Yesu n'amugamba nti Genda oyite balo, okomewo wano. 17Omukazi n'addamu n'amugamba nti Sirina baze. Yesu n'amugamba nti Oyogedde bulungi nti Sirina baze; 18kubanga walina babalo bataano, naye gw'olina kaakano si balo: ekyo ky'oyogedde mazima. 19#1 Kol 14:24,25, Yok 9:17Omukazi n'amugamba nti Ssebo, ndaba nti oli nnabbi. 20#Ma 12:5, Zab 122:1-9Bajjajjaffe baasinzizanga ku lusozi luno; nammwe mugamba nti Yerusaalemi kye kifo ekigwana okusinzizangamu. 21#Mak 14:58Yesu n'amugamba nti Omukyala, nzikiriza, ekiseera kijja kye batalisinzizangamu Kitaffe ku lusozi luno newakubadde mu Yerusaalemi. 22#2 Bassek 17:29-41, Is 2:3Mmwe musinza kye mutamanyi; ffe tusinza kye tumanyi; kubanga obulokozi buva mu Buyudaaya. 23Naye ekiseera kijja, era kituuse, abasinza amazima lwe banaasinzizanga Kitaffe mu mwoyo n'amazima: kubanga Kitaffe anoonya abali ng'abo okubeera ab'okumusinzanga. 24#Bar 12:1, 2 Kol 3:17Katonda gwe Mwoyo: n'abo abamusinza kibagwanira okusinzizanga mu mwoyo n'amazima. 25#Yok 1:41Omukazi n'amugamba nti Mmanyi nga Kristo ajja (gwe bayita Eyafukibwako amafuta): ye bw'alijja alitubuulira ebigambo byonna. 26#Yok 9:37; 10:25Yesu n'amugamba nti Nze nzuuno ayogera naawe.
27Amangu ago abayigirizwa be ne bajja; ne beewuunya kubanga abadde ayogera n'omukazi: naye tewali muntu eyagamba nti Onoonya ki? oba nti Kiki ekikwogeza naye? 28Awo omukazi n'aleka ensuwa ye, n'agenda mu kibuga, n'abuulira abantu nti 29Mujje mulabe omuntu aŋŋambye bye nnakolanga byonna: ayinza okuba nga ye Kristo? 30Ne bava mu kibuga, ne bajja gy'ali. 31Mu kiseera ekyo abayigirizwa baali nga bamwegayirira nga bagamba nti Labbi, lya. 32#Yok 4:34Naye n'abagamba nti Nnina ekyokulya kye ndya kye mutamanyi. 33Awo abayigirizwa ne boogera bokka na bokka nti Waliwo omuntu amuleetedde ekyokulya? 34#Yok 17:4Yesu n'abagamba nti Ekyokulya kyange kwe kukolanga eyantuma by'ayagala n'okutuukiriza omulimu gwe. 35#Mat 9:37, Luk 10:2Mmwe temwogera nti Esigaddeyo emyezi ena okukungula kulyoke kutuuke? Laba, mbagamba nti Muyimuse amaaso mulabe ennimiro nga zimaze okutukula okukungulibwa. 36Akungula aweebwa empeera, n'akuŋŋaanya ebibala olw'obulamu obutaggwaawo; asiga n'akungula basanyukire wamu. 37#Mi 6:15Kubanga ekigambo kino bwe kiri bwe kityo eky'amazima nti Asiga mulala, n'akungula mulala. 38Nze nnabatuma okukungula kye mutaatengejjera: abalala baakola emirimu, nammwe muyingidde emirimu gyabwe.
39Ab'omu kibuga omwo Abasamaliya bangi ku bo abaamukkiriza olw'ekigambo ky'omukazi, eyategeeza nti Aŋŋambye bye nnakolanga byonna. 40Awo Abasamaliya bwe baatuuka w'ali ne bamwegayirira abeere nabo: n'asulayo ennaku bbiri. 41Bangi nnyo ne beeyongera okukkiriza olw'ekigambo kye, 42#1 Yok 4:14ne bagamba omukazi nti Kaakano tukkiriza, si lwa kwogera kwo kwokka: kubanga twewuliridde fekka, n'okutegeera tutegedde nga mazima ono ye Mulokozi w'ensi.
43 #
Mat 4:12
Ennaku ezo ebbiri bwe zaayitawo, n'avaayo n'agenda e Ggaliraaya. 44#Mat 13:57, Mak 6:4, Luk 4:24Kubanga Yesu yennyini yategeeza nti Nnabbi mu nsi y'ewaabwe tebamussaamu kitiibwa. 45#Yok 2:23Awo bwe yatuuka e Ggaliraaya, Abagaliraaya ne bamusembeza, bwe baalaba byonna bye yakolera e Yerusaalemi ku mbaga: kubanga nabo baagenda ku mbaga.
46 #
Yok 2:1,9 Awo n'ajja nate ku Kaana eky'e Ggaliraaya, mwe yafuulira amazzi envinnyo. Era yaliyo omukungu wa kabaka, eyalina omwana we omulenzi yali alwalidde mu Kaperunawumu. 47#Luk 7:2Oyo bwe yawulira nti Yesu avudde e Buyudaaya ng'atuuse e Ggaliraaya, n'ajja gy'ali, n'amwegayirira aserengete awonye omwana we; kubanga yali ng'agenda kufa. 48#Yok 2:18, 1 Kol 1:22Awo Yesu n'amugamba nti Bwe mutaliraba bubonero n'eby'amagero temulikkiriza n'akatono. 49Omukungu n'amugamba nti Ssebo, serengeta akaana kange nga tekannaba kufa. 50Yesu n'amugamba nti Genda; omwana wo mulamu. Omuntu oyo n'akkiriza ekigambo Yesu ky'amugambye, n'agenda. 51#Mat 8:6Bwe yali ng'akyaserengeta, abaddu be ne bamusisinkana ne boogera nti Omwana we mulamu. 52Awo n'ababuuliriza essaawa mwe yassuukidde. Awo ne bamugamba nti Jjo obudde nga ssaawa ya musanvu omusujja ne gumuwonako. 53#Luk 19:9, Bik 16:15,31Awo kitaawe n'ategeera nti mu ssaawa eyo Yesu mwe yamugambira nti Omwana wo mulamu: ye n'akkiriza n'ennyumba ye yonna. 54#Yok 2:11,23Kano ke kabonero ak'okubiri nate Yesu ke yakola bwe yava e Buyudaaya okujja e Ggaliraaya.
Currently Selected:
Yokaana 4: LUG68
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.

: