Lukka 15
15
1Awo abawooza bonna n'abalina ebibi baali nga bamusemberera okumuwulira. 2#Luk 5:30Abafalisaayo era n'abawandiisi ne beemulugunya, nga bagamba nti Ono asembeza abalina ebibi, era alya nabo.
3N'abagerera olugero luno, ng'agamba nti 4#Ez 34:11,16, Luk 19:10#Mat 18:12-14Muntu ki ku mmwe alina endiga ekikumi, bw'abulwako emu, ataleka ziri ekyenda mu omwenda ku ttale, n'agoberera eri eyabuze, okutuusa lw'aligiraba? 5Kale bw'agiraba, agissa ku kibegabega kye ng'asanyuka. 6Bw'atuuka eka, ayita mikwano gye ne baliraanwa be, n'abagamba nti Munsanyukireko, kubanga nzudde endiga yange eyabadde ebuze. 7Mbagamba nti Bwe kityo linaabanga ssanyu mu ggulu olw'oyo alina ebibi omu eyeenenya, okusinga abatuukirivu ekyenda mu omwenda, abateetaaga kwenenya.
8Oba mukazi ki alina erupiya ekkumi, bw'abulwako erupiya emu, atakoleeza ttabaaza n'ayera ennyumba, n'anyiikira okunoonya okutuusa lw'agizuula? 9Bw'agiraba, ayita mikwano gye ne baliraanwa be n'agamba nti Munsanyukireko, kubanga nzudde erupiya eyabadde embuze. 10#Bef 3:10Mbagamba nti Bwe kityo liba ssanyu mu maaso ga bamalayika ba Katonda olw'oyo alina ebibi omu eyeenenya.
11N'agamba nti Waaliwo omuntu eyalina batabani be babiri: 12omuto n'agamba kitaawe nti Kitange, mpa omugabo gw'ebintu oguŋŋwanidde. Kale n'abagabira eby'obulamu bwe. 13#Nge 29:3Awo oluvannyuma lw'ennaku si nnyingi, oyo omwana omuto n'akuŋŋaanya ebibye byonna, n'atambula n'agenda mu nsi ey'ewala; n'asaasaanyiza eyo ebintu bye mu mpisa embi. 14Awo bwe yamala okubirya byonna, enjala nnyingi n'egwa mu nsi omwo, n'atanula okudaagana. 15N'agenda ne yeegatta n'omwami ow'omu nsi eyo; oyo n'amusindika mu kyalo kye okulundanga embizzi. 16#Nge 23:31Ne yeegombanga okukkuta ebikuta embizzi bye zaalyanga: ne watabaawo muntu amuwa. 17Naye bwe yeddamu, n'agamba nti Abaweereza bameka ab'empeera aba kitange abakkuta emmere ne balemwa, nange nfiira wano enjala! 18#Yer 3:12, Zab 51:4Nnaagoloka ne ŋŋenda eri kitange, ne mmugamba nti Kitange, nnyonoonye eri eggulu ne mu maaso go; 19sikyasaana kuyitibwa mwana wo; nfuula ng'omu ku baweereza bo ab'empeera. 20N'agolokoka n'ajja eri kitaawe. Naye yali ng'akyali wala, kitaawe n'amulengera, n'amusaasira, n'adduka mbiro, n'amugwa mu kifuba, n'amunywegera nnyo. 21Oyo omwana n'amugamba nti Kitange, nnyonoonye eri eggulu ne mu maaso go; sikyasaana kuyitibwa mwana wo. 22Naye kitaawe n'agamba abaddu be nti Mugende muleete mangu olugoye olusinga zonna, mulumwambaze: mumunaanike empeta ku ngalo, n'engatto mu bigere bye: 23muleete n'ennyana eya ssava, mugitte, tulye, tusanyuke; 24#Bef 2:1,5; 5:14kubanga omwana wange ono yali afudde, azuukidde; yali azaaye, azaawuse. Ne batandika okusanyuka. 25Naye omwana we omukulu yali mu kyalo; bwe yajja ng'anaatera okutuuka ku nnyumba, n'awulira eŋŋoma n'amazina. 26Ku baddu n'ayitako omu, n'amubuuza ebyo bwe bibadde. 27N'amugamba nti Muganda wo azze: ne kitaawo amuttidde ennyana eya ssava kubanga amuzaawudde nga mulamu. 28#Luk 15:2Naye n'asunguwala, n'atayagala kuyingira: kitaawe n'afuluma n'amwegayirira. 29Naye ye n'addamu n'agamba kitaawe nti Laba, emyaka gino mingi nga nkuweereza, so sikusobyanga n'akatono ky'ondagidde; nange ennaku zonna tompanga na kabuzi ka kusanyuka ne mikwano gyange; 30naye omwana wo oyo, eyalya eby'obulamu bwo wamu n'abenzi, bw'azze, ng'omuttira ennyana eya ssava. 31#Yok 17:10Ye n'amugamba nti Mwana wange, ggwe bulijjo ng'oli wamu nange, era byonna ebyange bye bibyo. 32Naye okujaguza n'okusanyuka kwa nsonga: kubanga muganda wo oyo yali afudde, azuukidde; era yali azaaye, azaawuse.
Currently Selected:
Lukka 15: LUG68
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.

: