Amas 5
5
1 #
1 Ebyaf 1,1-4. Kino kye kitabo ky'ezzadde lya Adamu. Ku lunaku Omukama lwe yatonda omuntu, yamukola mu nfaanana ya Katonda. 2Yabatonda omusajja n'omukazi, n'abawa omukisa, n'abayita erinnya lyabwe muntu ku lunaku lwe baatondebwa.
3Adamu yali aweza emyaka kikumi mu asatu n'azaala omwana omulenzi, mu mbala ye, mu kifaananyi kye, n'amutuuma Seti. 4Adamu bwe yamala okuzaala Seti yawangaalayo emyaka emirala lunaana; yazaala abaana abalenzi n'abawala. 5Gyonna awamu Adamu yawangaala emyaka lwenda mu asatu, n'afa.
6Seti yali aweza emyaka kikumi mu etaano n'azaala Enosi. 7Ne Seti bwe yamala okuzaala Enosi yawangaalayo emyaka emirala lunaana mu musanvu; yazaala abaana abalenzi n'abawala. 8Gyonna awamu Seti yawangaala emyaka lwenda mu kkumi n'ebiri, n'afa.
9Enosi yali aweza emyaka kyenda n'azaala Kenani. 10Ate bwe yamala okuzaala Kenani yawangaalayo emyaka emirala lunaana mu kkumi n'ettaano; yazaala abaana abalenzi n'abawala. 11Gyonna awamu Enosi yawangaala emyaka lwenda mu etaano, n'afa.
12Ne Kenani yali aweza emyaka nsanvu n'azaala Maalaleeli. 13Ate Kenani bwe yamala okuzaala Maalaleeli yawangaalayo emyaka emirala lunaana mu ana. Yazaala abaana abalenzi n'abawala. 14Gyonna awamu Kenani yawangaala emyaka lwenda mu kkumi, n'afa.
15Maalaleeli yali aweza emyaka nkaaga mu etaano n'azaala Yaredi. 16Maalaleeli bwe yamala okuzaala Yaredi yawangaalayo emyaka emirala lunaana mu asatu; yazaala abaana abalenzi n'abawala. 17Gyonna awamu Maalaleeli yawangaala emyaka lunaana mu kyenda mu etaano, n'afa.
18Ne Yaredi yali aweza emyaka kikumi mu nkaaga mu ebiri n'azaala Enoki. 19Yaredi bwe yamala okuzaala Enoki yawangaalayo emyaka emirala lunaana; yazaala abaana abalenzi n'abawala. 20Gyonna awamu Yaredi yawangaala emyaka lwenda mu nkaaga mu ebiri, n'afa.
21Enoki yali aweza emyaka nkaaga mu etaano n'azaala Metusela 22Enoki ng'amaze okuzaala Metusela yawangaalayo emyaka emirala ebikumi bisatu; yatambuliranga mu Katonda. Yazaala abaana abalenzi n'abawala. 23#Sir 44,16; 49,14; Abeeb 11,5.Gyonna awamu Enoki yawangaala emyaka bikumi bisatu mu nkaaga mu etaano. 24Yatambuliranga mu Katonda, olumu n'aba nga takyaliwo, kubanga Katonda yamutwala.
25Metusela yali aweza emyaka kikumi mu kinaana mu musanvu n'azaala Lameki. 26Metusela bwe yamala okuzaala Lameki yawangaalayo emyaka emirala lusanvu mu kinaana mu ebiri; yazaala abaana abalenzi n'abawala. 27Gyonna awamu Metusela yawangaala emyaka lwenda mu nkaaga mu mwenda, n'afa.
28Lameki yali aweza emyaka kikumi mu kinaana mu ebiri, n'azaala omwana mulenzi. 29Yamutuuma Nowa,#5,29 Nowa liva mu kigambo ekitegeeza okukubagiza. ng'agamba nti: “Ono alitukubagiza olw'okukuluusana kwaffe n'okukabassana olw'ettaka Omukama lye yavumirira.” 30Lameki bwe yamala okuzaala Nowa yawangaalayo emyaka emirala ebikumi bitaano mu kyenda mu etaano, yazaala abaana abalenzi n'abawala. 31Gyonna awamu Lameki yawangaala emyaka lusanvu mu nsanvu mu musanvu, n'afa.
32Nowa bwe yali nga wa myaka ebikumi bitaano n'azaala Seemu, Kaamu ne Yafesi.
Batabani ba Katonda ne bawala b'abantu
Currently Selected:
Amas 5: BIBU1
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.

: