OKUVA E MISIRI 10:21-23
OKUVA E MISIRI 10:21-23 LBWD03
Awo Mukama n'agamba Musa nti: “Golola omukono gwo eri eggulu, ekizikiza ekikutte bezzigizigi kibe ku nsi ey'e Misiri.” Musa n'agolola omukono gwe eri eggulu, ekizikiza ekikutte ne kibikka ensi yonna ey'e Misiri, okumala ennaku ssatu. Abamisiri ne batasobola kulabagana, era tewali yava mu kifo mwe yali, okumala ennaku ssatu. Naye Abayisirayeli baalina ekitangaala ewaabwe gye baabeeranga.





