OKUVA E MISIRI 20
20
Ebiragiro ekkumi
(Laba ne Ma 5:1-21)
1Katonda n'ayogera, era byonna bye yayogera bye bino: 2“Nze MUKAMA Katonda wo eyakuggya mu nsi ey'e Misiri, gye wafugirwanga obuddu.
3“Tobanga na Katonda mulala okuggyako nze.
4“Teweekoleranga kifaananyi kya kintu na kimu eky'omu ggulu, oba eky'oku nsi, oba eky'omu mazzi agali wansi w'ettaka.#Laba ne Kuv 34:17; Leev 19:4; 26:1; Ma 4:15-18; 27:15 5Toovuunamirenga bifaananyi ebyo, era toobisinzenga, kubanga Nze Mukama Katonda wo, sivuganyizibwa. Mbonereza abaana n'abazzukulu bannakasatwe ne bannakana, olw'ebibi bya bajjajjaabwe abankyawa.#Laba ne Kuv 34:6-7; Kubal 14:18; Ma 7:9-10 6Naye nsaasira abantu enkumi n'enkumi abanjagala era abakuuma ebiragiro byange.
7“Tomalanga gakozesa linnya lyange, kubanga Nze Mukama, Katonda wo, ndibonereza buli muntu amala gakozesa erinnya lyange.#Laba ne Leev 19:12
8“Ojjukiranga okukuuma olunaku lwa Sabbaato nga lutukuvu.#Laba ne Kuv 16:23-30; 31:12-14 9Olina ennaku mukaaga okukolerangamu emirimu gyo gyonna.#Laba ne Kuv 23:12; 31:15; 34:21; 35:2; Leev 23:3 10Naye olunaku olw'omusanvu ye Sabbaato, luweereddwayo nga lwange, Nze Mukama, Katonda wo. Ku lunaku olwo, tokolerangako mulimu na gumu, ggwe n'abaana bo ab'obulenzi n'ab'obuwala, n'abaddu bo n'abazaana bo, n'ebisolo byo, wadde abagwira abali omumwo. 11Kubanga mu nnaku omukaaga, Nze Mukama mwe nakolera eggulu n'ensi n'ennyanja, n'ebintu byonna ebirimu, ne mpummulira ku lunaku olw'omusanvu. Nze Mukama kyennava mpa omukisa olunaku olwo olwa Sabbaato, ne ndutukuza.#Laba ne Nta 2:1-3; Laba ne Kuv 31:17
12“Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa, olyoke owangaale mu nsi Nze Mukama Katonda gye nkuwa.#Laba ne Ma 27:16; Mat 15:4; 19:19; Mak 7:10; 10:19; Luk 18:20; Beef 6:2-3
13“Tottanga.#Laba ne Nta 9:6; Leev 24:17; Mat 5:21; 19:18; Mak 10:19; Luk 18:20; Bar 13:9; Yak 2:11
14“Toyendanga.#Laba ne Leev 20:10; Mat 5:27; 19:18; Mak 10:19; Luk 18:20; Bar 13:9; Yak 2:11
15“Tobbanga.#Laba ne Leev 19:11; Mat 19:18; Mak 10:19; Luk 18:20; Bar 13:9
16“Towaayirizanga muntu munno.#Laba ne Kuv 23:1; Mat 19:18; Mak 10:19; Luk 18:20
17“Teweegombanga nnyumba ya muntu mulala, teweegombanga mukazi we, newaakubadde omuddu we, oba omuzaana we, oba ente ye, oba endogoyi ye, wadde ekintu kye ekirala.”#Laba ne Bar 7:7; 13:9
Abantu batya
(Laba ne Ma 5:22-33)
18Abantu bonna bwe baawulira okubwatuka kw'eggulu n'eddoboozi ery'eŋŋombe, era bwe baalaba okumyansa, n'olusozi nga lunyooka omukka, ne bakankana, ne bayimirira wala.#Laba ne Beb 12:18-19 19Ne bagamba Musa nti: “Ggwe oba oyogera naffe, tujja kuwulira. Naye Katonda bw'anaayogera naffe, tujja kufa.”
20Musa n'agamba abantu nti: “Muleme kutya, kubanga Katonda azze kubageza bugeza, mulyoke mumuwulirenga, mulemenga kwonoona.” 21Naye abantu ne basigala nga bayimiridde wala. Musa n'asemberera ekire ekikwafu, Katonda kye yalimu.
Amateeka agafuga alutaari
22Mukama n'agamba Musa nti: “Gamba Abayisirayeli nti: ‘Mulabye bwe nsinzidde mu ggulu ne njogera nammwe. 23Temwekoleranga balubaale aba ffeeza oba aba zaabu okubageraageranya ku nze. 24Munkolere alutaari ey'ettaka, era ku yo mutambirireko endiga zammwe n'ente zammwe ez'okwokya nga nnamba, era n'ezo eziriirwa awamu olw'okutabagana. Mu buli kifo kye ndibalondera okunsinzizangamu, ndijja gye muli, ne mbawa omukisa. 25Bwe munkoleranga alutaari ey'amayinja, temugizimbisanga mayinja gatemeddwa, kubanga ebyuma bye mukozesa okugatema, bigafuula agatasaanira.#Laba ne Ma 27:5-7; Yos 8:31 26Temulinnyanga madaala okutuuka ku alutaari yange, sikulwa nga mwebikkulirako mu ngeri etesaana.’
Currently Selected:
OKUVA E MISIRI 20: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.