OKUVA E MISIRI 23
23
Amazima n'obwenkanya
1“Toosaasaanyenga bigambo bya bulimba, era tooyambenga muntu mubi, ng'owa obujulizi obw'obulimba.#Laba ne Kuv 20:16; Leev 19:11-12; Ma 5:20 2Toogobererenga abasinga obungi, bwe bakola ekibi, oba bwe bawa obujulizi obukyamya ensala ey'amazima. 3Teweekubirenga ku ludda lwa mwavu asinge omusango.#Laba ne Leev 19:15
4“Bw'osanganga ente, oba endogoyi y'omulabe wo ng'ebuze, ogizzangayo gy'ali.#Laba ne Ma 22:1-4 5Bw'olabanga endogoyi y'omuntu akukyaye ng'egudde olw'obuzito bwe yeetisse, muyambe ogikwatireko eyimirire, toyitangawo buyisi.
6“Toogaanenga kusalira mwavu mazima mu musango gwe.#Laba ne Leev 19:15; Ma 16:19 7Weewalanga okwogera eby'obulimba. Atalina kabi na musango tomuttanga, kubanga buli akola ekibi, sirirema kumusalira musango kumusinga. 8Tokkirizanga kuweebwa nguzi, kubanga enguzi eziba abantu amaaso, ne batalaba kituufu, era ekyamya ebigambo by'abatalina musango. 9Toyisanga bubi mugwira. Mumanyi omugwira nga bw'awulira, kubanga nammwe mwali bagwira mu nsi ey'e Misiri.#Laba ne Kuv 22:21; Leev 19:33-34; Ma 24:17-18; 27:19
Omwaka ogw'omusanvu n'olunaku olw'omusanvu
10“Okumala emyaka mukaaga, osiganga ennimiro yo, n'okungulanga by'ebazizza.#Laba ne Leev 25:1-7 11Naye mu mwaka ogw'omusanvu, ogiwummuzanga n'otogirima, abaavu mu mmwe balyoke balyenga ebikulamu. Bye baleseewo, ensolo ez'omu ttale zinaabiryanga. Bw'otyo bw'onookolanga n'ennimiro yo ey'emizabbibu, n'ey'emizayiti.
12“Mu nnaku mukaaga, okolanga emirimu gyo, naye ku lunaku olw'omusanvu, owummulanga, abaddu bo n'abagwira abakukolera balyoke bawummule, era n'ente zo n'endogoyi zo nazo ziwummule.#Laba ne Kuv 20:9-11; 31:15; 34:21; 35:2; Leev 23:3; Ma 5:13-14
13“Mukuumenga byonna bye mbagambye. Temuusinzenga balubaale wadde okukoowoolanga amannya gaabwe.
Embaga essatu enkulu
(Laba ne Kuv 34:18-26; Ma 16:1-17)
14“Munaakuzanga embaga ssatu buli mwaka, okunzisaamu ekitiibwa. 15Munaakuzanga Embaga ey'Emigaati egitazimbulukusiddwa. Okumala ennaku musanvu munaalyanga migaati egitazimbulukusiddwa, nga bwe nabalagira mu kiseera ekyateekebwawo mu mwezi gwa Abibu, kubanga omwezi ogwo gwe mwaviiramu mu Misiri. Tewabanga n'omu ajja ngalo nsa okunsinza.#Laba ne Kuv 12:14-20; Leev 23:6-8; Kubal 28:17-25
16“Munaakuzanga Embaga ey'Amakungula, nga mutandika okukungula ebibala byammwe bye mwasiga mu nnimiro, era munaakuzanga Embaga ey'Ensiisira, ku nkomerero y'omwaka, bwe munaakungulanga ebibala mu nnimiro zammwe.#Laba ne Leev 23:15-21,39-43; Kubal 28:26-31 17Buli mwaka ku mbaga ezo essatu, abasajja bonna mu mmwe, banajjanga okunsinza Nze Mukama Katonda. 18Omusaayi gw'ensolo gye muntambiridde, temuugumpeerenga wamu n'emigaati egizimbulukusiddwa. Era n'amasavu g'ensolo ezitambiddwa ku mbaga yange, tegaasigalengawo okutuusa enkeera. 19Ebibala ebisooka okukungulwa mu nnimiro zammwe, mubireetanga mu nnyumba ya Mukama Katonda wammwe.
“Temuufumbirenga mbuzi nto mu mata ga nnyina waayo.#Laba ne Kuv 34:26; Ma 14:21; 26:2
Ebisuubizo n'ebiragiro
20“Nja kutuma malayika okubakulemberamu, abakuume mu kkubo, abatuuse mu kifo kye nateekateeka. 21Mumusseemu ekitiibwa, era mumuwulire. Temumujeemera, kubanga nze mmutumye, era tajja kusonyiwa bujeemu bwammwe. 22Naye bwe munaawuliranga ne mukolanga byonna bye ndagira, nnaalwanyisanga abalabe bammwe bonna. 23Malayika wange alibakulemberamu, n'abayingiza mu nsi y'Abaamori, n'Abahiiti, n'Abaperizi, n'Abakanaani, n'Abahiivi era n'Abayebusi, era abo ndibazikiriza. 24Temuuvuunamirenga balubaale baabwe, wadde okubasinzanga, era temuukoppenga mpisa za bantu abo, naye muzikirizanga balubaale baabwe, ne mumenyaamenya n'empagi zaabwe. 25Bwe munaasinzanga Nze Mukama Katonda wammwe, ndibawa omukisa, ne mufuna emmere n'amazzi, era ndibaggyako obulwadde bwammwe bwonna. 26Mu nsi yammwe tewaliba mukazi avaamu lubuto, oba aliba omugumba, era ndibawangaaza mmwe.
27“Nditiisa abantu ababeekiika mu maaso, nditabulatabula abantu bonna be mulwanyisa, era ndireetera abalabe bammwe bonna okukyuka babadduke mmwe. 28Ndisindika ennumba okubakulemberamu, ezirigoba Abahiivi, n'Abakanaani, n'Abahiiti nga mutuuka. 29Siribagoba mu mwaka gumu, ensi ereme okuzika, n'ensolo ez'omu ttale zireme okubayitirirako mmwe obungi. 30Naye abantu abo ndibagoba mpolampola, okutuusa mmwe lwe mulyeyongera obungi, ensi eyo yonna n'eba yammwe. 31Nditeekawo ensalo z'ensi yammwe, okuva ku Nnyanja Emmyufu okutuuka ku nnyanja ey'Abafilistiya, n'okuva ku ddungu okutuuka ku Mugga Ewufuraate. Ndibawa obuyinza ku batuuze b'omu nsi eyo, era mulibagobamu nga mutuuka. 32Temukolanga ndagaano nabo, wadde ne balubaale baabwe. 33Temulekanga bantu abo kubeeranga mu nsi yammwe, baleme kukola kibi mu maaso gange, kubanga bwe mulisinza balubaale baabwe, tekirirema kubasuula mmwe mu mutego.”
Currently Selected:
OKUVA E MISIRI 23: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

: