OKUVA E MISIRI 25
25
Ebiweebwayo olw'ekifo ekitukuvu
(Laba ne Kuv 35:4-9)
1Mukama n'agamba Musa nti: 2“Tegeeza Abayisirayeli, bantonere ebirabo. Buli muntu mulimuggyako ekirabo ky'ayagala okuntonera. 3Bino bye birabo bye mulibaggyako: zaabu ne ffeeza n'ekikomo, 4n'olugoye olulungi olweru, n'olwa bbululu, n'olwa kakobe, n'olumyufu, n'olukoleddwa mu byoya by'embuzi, 5n'amaliba g'endiga amannyike amamyufu, n'amaliba g'embuzi, n'omuti ogwa akasiya, 6n'amafuta ag'ettaala, n'ebyakawoowo ebitabulwa mu muzigo ogwesiigibwa, ne mu bubaane obw'okunyookeza, 7n'amayinja ag'omuwendo, agayitibwa onika, n'amayinja amalala ag'omuwendo, ag'okuwunda ku kkanzu, ne ku kyambalo eky'omu kifuba, ebya Ssaabakabona. 8Era abantu bankolere Ekifo Ekitukuvu, ndyoke mbeerenga wakati mu bo. 9Mulikola ne byonna ebikirimu, nga mugoberera enkola gye nnaakulaga.
Essanduuko ey'Endagaano
(Laba ne Kuv 37:1-9)
10“Mulikola essanduuko ey'omuti ogwa akasiya, sentimita kikumi mu kkumi obuwanvu, sentimita nkaaga mu mukaaga obugazi, ne sentimita nkaaga mu mukaaga obugulumivu. 11Munda ne kungulu, muligibikkako zaabu omulungi, era muligikolako omuge ogwa zaabu okugyetoolooza. 12Muligikolera empeta nnya eza zaabu, ne muzisiba ku magulu gaayo ana, ng'ebbiri ziri ku ludda lwayo olumu, n'endala ebbiri, ku ludda lwayo olulala. 13Era mulikola emisituliro egy'omuti ogwa akasiya, ne mugibikkako zaabu. 14Muligiyingiza mu mpeta, ku buli ludda olw'essanduuko, esitulirwenga ku gyo. 15Emisituliro giribeera mu mpeta ez'essanduuko, tegiggyibwengamu. 16Muliteeka ku ssanduuko ebipande eby'amayinja, bye ndikuwa, okuwandiikiddwa ebiragiro.
17“Muliddira zaabu omulungi, ne mukolamu entebe ey'obusaasizi, ya sentimita kikumi mu kkumi obuwanvu, ne sentimita nkaaga mu mukaaga obugazi.#Laba ne Beb 9:5 18Mulikola bakerubi babiri aba zaabu omuweese, ne mubateeka ku nsonda ebbiri ez'entebe ey'obusaasizi, 19omu ku nsonda emu, n'omulala ku nsonda endala, ne bafuukira ddala kitundu kya ntebe ey'obusaasizi, ku nsonda zaayo zombi. 20Bakerubi balitunuuliragana, era nga batunuulidde entebe ey'obusaasizi, n'ebiwaawaatiro byabwe ebyanjuluze, birigibikka. 21Ebipande eby'amayinja bye ndikuwa, olibiteeka mu ssanduuko, n'ogiteekako entebe ey'obusaasizi. 22Ekyo kye kifo we nnaasisinkaniranga naawe, era nnaasinziiranga ku ntebe ey'obusaasizi, eri wakati wa bakerubi bombi, ku Ssanduuko ey'Endagaano, ne nkutegeeza byonna bye nnaalagiranga Abayisirayeli.
Emmeeza ey'okuteekako emigaati
(Laba ne Kuv 37:10-16)
23“Mulikola emmeeza ey'omuti ogwa akasiya, sentimita kinaana mu munaana obuwanvu, sentimita ana mu nnya obugazi, ne sentimita nkaaga mu mukaaga obugulumivu. 24Muligibikkako zaabu omulungi, era muligikolako omuge ogwa zaabu okugyetoolooza. 25Muligikolako olukugiro lwa milimita nsanvu mu ttaano okugyetoolooza. Ku lukugiro olwo mulikolako omuge okulwetoolooza. 26Muligikolera empeta nnya eza zaabu, ne muziteeka ku nsonda zaayo ennya awali amagulu gaayo. 27Empeta ezo ez'okuteekamu emisituliro gy'emmeeza, ziriteekebwa kumpi n'olukugiro. 28Mulikola emisituliro egy'omuti ogwa akasiya, ne mugibikkako zaabu, emmeeza esitulirwenga ku gyo. 29Era mulikola essowaani n'ensaniya ez'okuteekako obubaane, ensuwa n'ebikopo eby'okukozesa ku biweebwayo ebinywebwa. Mulibikola mu zaabu omulungi. 30Munaateekanga ku mmeeza emigaati emitukuvu gibeerenga mu maaso gange bulijjo.#Laba ne Leev 24:5-8
Ekikondo ky'ettaala
(Laba ne Kuv 37:17-24)
31“Mulikola ekikondo ky'ettaala ekya zaabu omulungi. Ekikolo kyakyo n'enduli yaakyo, biriba bya zaabu omuweese. Ebikopo byakyo n'ebituttwa byakyo n'ebimuli byakyo biriba bya zaabu ye omu n'ow'ekikondo. 32Kiriba n'amatabi mukaaga ku njuyi zaakyo: amatabi asatu ku buli ludda. 33Buli limu ku matabi omukaaga, liribeerako ebikopo bisatu ebifaanana ng'ebimuli bya alumondi okuli ekituttwa n'ekimuli. 34Ku nduli y'ekikondo ky'ettaala kulibeerako ebikopo bina ebifaanana ng'ebimuli. 35Wansi wa buli matabi abiri ku matabi omukaaga agava ku nduli y'ekikondo, wabeewo ekituttwa kimu, nga kya zaabu ye omu n'ow'ekikondo. 36Ebituttwa byakyo n'amatabi gaakyo biribeera bya zaabu ye omu n'ow'ekikondo, nga kyonna awamu kikoleddwa mu zaabu omulungi omuweese. 37Era mulikola ettaala musanvu ez'okuteeka ku kikondo, era banaazikoleezanga ne zimulisa ebbanga eriri mu maaso gaakyo. 38Makansi zaakyo n'ensaniya zaakyo, biribeera bya zaabu omulungi. 39Ekikondo ky'ettaala n'ebintu byakyo byonna birikolebwa mu kilo amakumi asatu mu ttaano eza zaabu omulungi. 40Weegendereze obikole mu ngeri ekulagiddwa ku lusozi.#Laba ne Bik 7:44; Beb 8:5
Currently Selected:
OKUVA E MISIRI 25: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

: