YouVersion Logo
Search Icon

OKUVA E MISIRI 27

27
Alutaari
(Laba ne Kuv 38:1-7)
1“Mulikola alutaari ey'omuti ogwa akasiya, eyenkanankana ku njuyi zonna: mita bbiri n'ebitundu bibiri obuwanvu, ne mita bbiri n'ebitundu bibiri obugazi, ate mita emu n'ebitundu bisatu obugulumivu. 2Mulikola amayembe gaayo ku nsonda zaayo ennya, nga ga muti gwe gumu n'ogwayo, era mulibikkako ekikomo. 3Era mulikola eby'okukozesa ku alutaari eby'okuyoolerangamu evvu: mulikola n'ebijiiko, n'ebibya ne wuuma n'ensaniya. Ebintu byayo byonna mulibikola nga bya kikomo. 4Muligikolera ekitindiro ekiruke eky'ekikomo, ne mugisibako empeta nnya ku nsonda zaakyo ennya. 5Mulikiteeka wansi w'omugo gwa alutaari, ne kibeera wakati w'obugulumivu bwayo. 6Mulikola emisituliro egy'omuti ogwa akasiya, ne mugibikkako ekikomo, 7ne mugiyingiza mu mpeta ku buli ludda olw'alutaari, okugisitulirangako. 8Alutaari eyo muligikola nga ya mbaawo, era ng'erina ebbanga munda. Erikolebwa mu ngeri eyakulagibwa ku lusozi.
Oluggya lw'Eweema Entukuvu
(Laba ne Kuv 38:9-20)
9“Mulikola oluggya lw'Eweema Entukuvu, ne mulwetoolooza entimbe ez'olugoye olulukiddwa obulungi. Ku ludda olw'ebukiikaddyo, entimbe ziriba za mita amakumi ana mu nnya obuwanvu, 10nga ziwaniriddwa amalobo n'obuuma ebya ffeeza, ku bikondo amakumi abiri eby'ekikomo, ebisimbiddwa mu binnya byabyo amakumi abiri eby'ekikomo. 11Entimbe bwe zityo bwe ziriba ne ku ludda olw'ebukiikakkono, nga za mita amakumi ana mu nnya obuwanvu, nga ziwaniriddwa mu binnya byazo amakumi abiri eby'ekikomo. 12Ku ludda olw'ebugwanjuba, walibaayo entimbe za mita amakumi abiri mu bbiri obuwanvu, n'ebikondo kkumi, n'ebinnya kkumi. 13Ku ludda olw'ebuvanjuba, oluliko omulyango, oluggya luliba lwa mita amakumi abiri mu bbiri obugazi. 14-15Ku buli ludda olw'omulyango, walibeerayo entimbe za mita mukaaga n'ebitundu mukaaga, n'ebikondo bisatu, n'ebinnya bisatu. 16Omulyango gwennyini gulibeeramu olutimbe lwa mita mwenda obuwanvu, olulukiddwa mu lugoye olulungi, mu langi eya bbululu, n'eya kakobe, n'Emmyufu, nga kutungiddwako omudalizo. Luliwanirirwa ebikondo bina ebisimbiddwa mu binnya bina. 17Ebikondo byonna okwetooloola oluggya, birigattibwa n'emiziziko egya ffeeza, era amalobo gaabyo galikolebwa nga ga ffeeza, n'ebinnya byabyo nga bya kikomo. 18Oluggya luliba lwa mita amakumi ana mu nnya obuwanvu, mita amakumi abiri mu bbiri obugazi ne mita bbiri n'ebitundu bibiri obugulumivu. Entimbe zirikolebwa mu lugoye olulungi, ebinnya biriba bya kikomo. 19Ebintu byonna eby'okukozesa mu Weema Entukuvu, n'enkondo zaayo zonna, n'enkondo zonna ez'oluggya, biriba bya kikomo.
Okulabirira ettaala
(Laba ne Leev 24:1-4)
20“Oliragira Abayisirayeli bakuleetere amafuta amalungi ag'omuzayiti, ag'okuteeka mu ttaala, esobole okwakanga bulijjo. 21Arooni ne batabani be baliteeka ettaala mu Weema ey'okunsisinkanirangamu, ebeerenga ebweru w'olutimbe oluli mu maaso g'Essanduuko ey'Endagaano, eyakirenga awo mu maaso gange, okuva olweggulo okutuusa enkya. Etteeka eryo linaakuumibwanga ennaku zonna Abayisirayeli ne bazzukulu baabwe.

Currently Selected:

OKUVA E MISIRI 27: LBwD03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in