OKUVA E MISIRI 32:5-6
OKUVA E MISIRI 32:5-6 LBWD03
Arooni bwe yalaba ennyana eyo, n'azimba alutaari mu maaso gaayo, n'alangirira nti: “Enkya wanaabeerawo embaga okussaamu Mukama ekitiibwa.” Enkeera ne bazuukuka mu makya, ne bawaayo ebitambiro eby'okwokya, n'ebirala ebiriirwa awamu olw'okutabagana. Abantu ne batuula ne balya era ne banywa, ne basituka okuzina.





