OKUVA E MISIRI 40
40
Okusimba n'okutukuza Eweema ya Mukama
1Mukama n'agamba Musa nti: 2“Ku lunaku olubereberye olw'omwezi ogusooka, olisimba Eweema ey'okunsisinkanirangamu. 3Oligiteekamu Essanduuko ey'Endagaano, era olitimba olutimbe mu maaso gaayo. 4Oliyingiza emmeeza n'oteekateeka ebintu ebigiriko. Era oliyingiza ekikondo eky'ettaala, n'oteekako ettaala zaakyo. 5Alutaari eya zaabu ey'okwoterezangako obubaane, oligiteeka mu maaso g'Essanduuko ey'Endagaano, n'otimba olutimbe mu mulyango gw'Eweema Entukuvu. 6Oliteeka mu maaso g'omulyango gwayo alutaari, ey'okwokerangako ebiweebwayo. 7Oliteeka ebbenseni wakati w'Eweema eyo n'alutaari, n'ogiteekamu amazzi. 8Olisiba oluggya okwetooloola, n'otimba olutimbe mu mulyango gw'oluggya.
9“Awo olitukuza Eweema n'ebintu byonna ebirimu, n'obisiigako#40:9 n'obisiigako…oligusiiga ku…n'ogusiiga ne ku: Oba n'obifukako…oligufuka ku…n'ogufuka ku… omuzigo omutukuvu, olwo erifuuka ntukuvu. 10Era oligusiiga ku alutaari ey'okwokerangako ebiweebwayo, n'ogusiiga ne ku bintu byayo byonna, n'ogitukuza. Olwo erifuuka ntukuvu nnyo. 11Era oligusiiga ku bbenseni n'ekikondo kyayo, n'ogitukuza.
12“Olwo olireeta Arooni ne batabani be ku mulyango gw'Eweema ey'okunsisinkanirangamu, n'obanaaza n'amazzi, 13n'oyambaza Arooni ebyambalo ebitukuvu, n'omusiigako omuzigo, n'omutukuza, ampeerezenga mu bwakabona. 14Era olireeta batabani be n'obambaza amasaati, 15n'obasiigako omuzigo nga bw'osiize ku kitaabwe, bampeerezenga mu bwakabona. Era okusiigibwako omuzigo, kulibafuula bakabona obulamu bwabwe bwonna.”
16Musa n'akola byonna nga Mukama bwe yamulagira. 17Awo ku lunaku olubereberye olw'omwezi ogusooka mu mwaka ogwokubiri okuva lwe baava e Misiri, Eweema Entukuvu n'esimbibwa. 18Musa n'ateekawo ebinnya byayo, n'asimba embaawo zaayo, n'agatta emikiikiro gyayo, n'awangiza empagi zaayo. 19N'ayanjuluza eky'okugibikkako, era n'agiteekako n'eky'okugibikkako ekyokungulu, nga Mukama bwe yalagira. 20N'atwala ebipande by'amayinja ebibiri, n'abiteeka mu Ssanduuko ey'Endagaano. N'ateeka emisituliro mu mpeta z'Essanduuko, era n'ateeka kungulu w'Essanduuko, entebe ey'obusaasizi. 21N'ayingiza Essanduuko ey'Endagaano, nga Mukama bwe yamulagira.
22N'ateeka emmeeza mu Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama, ku ludda lwa Weema eyo olw'ebukiikakkono, ebweru w'olutimbe. 23N'agiteekako emigaati egiweebwayo eri Mukama, nga Mukama bwe yamulagira. 24N'ateeka ekikondo ky'ettaala mu Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama, mu maaso g'emmeeza, ku ludda lwa Weema eyo olw'ebukiikaddyo. 25N'akoleeza ettaala mu maaso ga Mukama, nga Mukama bwe yamulagira. 26N'ateeka alutaari eya zaabu mu Weema eyo, mu maaso g'olutimbe, 27n'agyoterezaako obubaane obuwunya akawoowo, nga Mukama bwe yamulagira. 28N'ateekawo olutimbe mu mulyango gwa Weema Entukuvu. 29N'ateeka ku mulyango gwa Weema eyo, alutaari ey'okwokerangako ebiweebwayo, n'aweerayo ku yo ekiweebwayo ekyokebwa, n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke, nga Mukama bwe yamulagira. 30N'ateeka ebbenseni wakati wa Weema eyo n'alutaari, n'agiteekamu amazzi ag'okunaaba. 31Musa, Arooni ne batabani be, ne banaabirangamu engalo zaabwe n'ebigere byabwe 32buli lwe baasembereranga alutaari, nga Mukama bwe yalagira Musa. 33Musa n'akola oluggya okwetooloola Weema Entukuvu n'alutaari, era n'atimba olutimbe mu mulyango gw'oluggya. Bw'atyo n'amaliriza omulimu gwe.
Ekire ku Weema Entukuvu
(Laba ne Kubal 9:15-23)
34Awo ekire ne kibikka ku Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama, era ekitiibwa kya Mukama ne kijjula mu yo.#Laba ne 1 Bassek 8:10-11; Yis 6:4; Ezek 43:4-5; Kub 15:8 35Musa n'atayinza kuyingira mu Weema eyo. 36Mu lugendo lwabwe lwonna ekire bwe kyavanga ku Weema Entukuvu, Abayisirayeli ne balyoka batambula. 37Naye ekire bwe kitaavangawo, tebaatambulanga, okutuusa lwe kyavangawo. 38Abayisirayeli mu lugendo lwabwe lwonna, baalabanga ekire kya Mukama nga kiri waggulu w'Eweema Entukuvu mu budde obw'emisana. Ate mu budde obw'ekiro, baalabanga omuliro nga gwakira waggulu waayo.
Currently Selected:
OKUVA E MISIRI 40: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

: