ENTANDIKWA 16
16
Agari ne Yisimayeli
1Saraayi muka Aburaamu, teyazaalira bba mwana. Kyokka yalina omuzaana Omumisiri, erinnya lye Agari. 2Saraayi n'agamba Aburaamu nti: “Mukama anziyizza okuzaala. Twala omuzaana wange, oboolyawo alinzaalira abaana.” Aburaamu n'akkiriza Saraayi by'amugambye. 3Aburaamu bwe yali nga yaakamala emyaka kkumi mu nsi ya Kanaani, mukazi we Saraayi n'amuwa Agari omuzaana we Omumisiri, abe mukazi we. 4Aburaamu ne yeegatta ne Agari, Agari n'aba olubuto. Agari, bwe yalaba ng'ali lubuto, n'anyooma mugole we. 5Saraayi n'agamba Aburaamu nti: “Ekibi ekinkoleddwa kiddire ggwe. Nakuwa omuzaana wange. Kale bwe yalaba ng'ali lubuto, n'annyooma. Mukama asalewo omutuufu wakati wo nange.”
6Aburaamu n'agamba Saraayi nti: “Ndaba ono muzaana wo, era ali mu mikono gyo! Mukole ky'oyagala!” Awo Saraayi n'akambuwalira nnyo Agari, Agari n'amuddukako.
7Awo malayika wa Mukama n'asisinkana Agari awali oluzzi mu ddungu, mu kkubo eriraga e Suuri. 8N'agamba nti: “Agari, omuzaana wa Saraayi, ova wa, era ogenda wa?” Agari n'amuddamu nti: “Nziruka mugole wange Saraayi.”
9Malayika wa Mukama n'amugamba nti: “Ddayo eri mugole wo, omugonderenga.” 10Malayika wa Mukama era n'amugamba nti: “Ndikuwa abazzukulu bangi nnyo, abatasobola na kubalika. 11Kaakati oli lubuto, era ojja kuzaala omwana wa bulenzi era omutuume erinnya Yisimayeli,#16:11 Yisimayeli: Mu Lwebureeyi kitegeeza “Katonda awulira.” kubanga Mukama awulidde okukaaba kwo mu buyinike. 12Naye mutabani wo aliba ng'entulege. Anaalwanagananga na buli muntu, era buli muntu anaalwanagananga naye, era aneeyawulanga ku baganda be.”
13Agari n'ayita Mukama eyayogera naye, nti: “Katonda alaba.#16:13 Katonda Alaba: Mu Lwebureeyi, “El Roi.”” Kubanga yagamba nti: “Ddala ndabye ku Katonda, ne nsigala nga ndi mulamu?” 14Oluzzi olwo oluli wakati wa Kadesi ne Beredi kyerwava luyitibwa “Oluzzi lw'Omulamu Andaba.”#16:14 Oluzzi lw'Omulamu Andaba: Mu Lwebureeyi: “Beer-lahai-roi”.
15Agari n'azaalira Aburaamu omwana ow'obulenzi, Aburaamu n'amutuuma erinnya Yisimayeli.#Laba ne Bag 4:22 16Olwo Aburaamu yali aweza emyaka kinaana mu mukaaga.
Currently Selected:
ENTANDIKWA 16: LBwD03
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

: