ENTANDIKWA 19
19
Obwonoonyi bwa Sodoma
1Bamalayika ababiri bwe baatuuka e Sodoma akawungeezi, Looti yali atudde ku mulyango gwa Sodoma. Looti bwe yabalaba, n'asituka okubasisinkana. N'avuunama ku ttaka, 2n'agamba nti: “Bakama bange, mbeegayiridde mukyame, muyingire omwange nze omuweereza wammwe, munaabe ku bigere era musule. Bwe bunaakya enkya, mukeere mugende.” Bo ne bagamba nti: “Nedda, tujja kusula wano ku luguudo.”
3Bwe yamala okubawaliriza ennyo, ne bagenda naye ewuwe, ne bayingira mu nnyumba ye. N'abafumbira embaga, nga kuliko emigaati egitazimbulukusiddwa, ne balya.
4Naye ng'abagenyi tebanneebaka, abasajja ab'omu kibuga Sodoma ne bazingiza ennyumba. Abantu bonna abato era n'abakulu ne bava wonna ne bajja. 5Ne bayita Looti, ne bamubuuza nti: “Abasajja abazze ewuwo ekiro kino bali ludda wa? Bafulumye, obatuwe tubeebakeko.”#Laba ne Balam 19:22-24
6Looti n'afuluma ebweru gye bali, n'aleka ng'aggaddewo oluggi. 7N'agamba nti: “Baganda bange, mbeegayiridde, temukola kibi kyenkanidde awo! 8Mulabe, nnina bawala bange babiri embeerera. Ka nfulumye abo gye muli, mubakole kye mwagala. Naye temubaako kye mukola ku basajja abo, kubanga bagenyi mu maka gange, nteekwa okubakuuma.”
9Naye bo ne bagamba nti: “Vvaawo! Olusajja luno olwasenga obusenzi kuno, kati lwe lutuwa ebiragiro? Tujja kukukolako n'obukambwe n'okusinga bali.” Ne banyigiriza nnyo Looti, ne basembera okumenya oluggi. 10Naye abasajja ababiri abaali munda, be basikayo Looti, ne bamuyingiza mu nnyumba, ne baggalawo oluggi. 11Ne baziba amaaso g'abasajja bonna abaali ebweru, ne balemwa okuzuula oluggi we luli.#2 Bassek 6:18
Looti ava mu Sodoma
12Awo abasajja ababiri ne bagamba Looti nti: “Bw'oba ng'olina wano abantu bo abalala, abaana bo ab'obulenzi n'ab'obuwala, bakoddomi bo, n'abalala bonna b'olina mu kibuga, baggye mu kifo kino, 13kubanga tugenda kuzikiriza ekifo kino. Mukama awulidde okwemulugunyiza abantu bano, n'atutuma okuzikiriza Sodoma.”
14Awo Looti n'agenda eri abasajja abaali bagenda okuwasa bawala be, n'abagamba nti: “Musituke mangu, muve mu kifo kino, kubanga Mukama agenda okuzikiriza ekibuga.” Naye bo ne balowooza nti yali asaaga.
15Bwe bwakya enkya, bamalayika ne bakubiriza Looti ayanguwe, nga bagamba nti: “Situka otwale mukazi wo, ne bawala bo bombi abali wano, oleme okuzikirizibwa awamu n'ekibuga eky'aboonoonyi.”
16Looti n'alwa. Kyokka Mukama olw'okumusaasira, abasajja ne bakwata ku mukono Looti ne mukazi we, ne bawala be bombi, ne babatwala ebweru w'ekibuga.#Laba ne 2 Peet 2:7 17Bwe bamala okubaggyiramu ddala, omu ku bamalayika n'agamba nti: “Mudduke, muleme okufa. Temutunula mabega, era temulwa mu lusenyi. Muddukire ku lusozi, muleme okuzikirizibwa.”
18Naye Looti n'addamu nti: “Nedda, Mukama wange, nkwegayiridde. 19Onkwatiddwa nnyo ekisa, n'omponya okufa. Naye olusozi luli wala! Nnaaba sinnaba kutuukayo, akabi ne kantuukako, ne nfa. 20Akabuga ako akatono okalaba? Ke kali okumpi. Nzikiriza nzirukire omwo, mponye obulamu bwange. Ndaba n'obutono katono.”
21N'addamu nti: “Kale ekyo ky'osabye nakyo nkikirizza obutazikiriza kibuga ekyo. 22Yanguwako oddukire omwo, kubanga siyinza kubaako kye nkola nga tonnakituukamu.” Ekibuga ekyo Looti kye yayita ekitono, kyekyava kituumibwa erinnya Zowari.#19:22 Zowari: Mu Lwebureeyi, kivuga ng'ekigambo ekitegeeza “Ekitono.”
Sodoma ne Gomora bizikirizibwa
23Enjuba yali ng'evuddeyo, Looti n'atuuka mu Zowari. 24Awo Mukama n'atonnyesa ku Sodoma ne Gomora omuliro n'obuganga, nga biva mu ggulu,#Laba ne Mat 10:15; 11:23-24; Luk 10:12; 17:29; 2 Peet 2:6; Yuda 7 25n'azikiriza ebibuga ebyo, n'olusenyi lwonna, awamu n'abantu bonna abaali mu bibuga ebyo, era n'ebimera byonna ku ttaka. 26Looti yali akulembeddemu, naye mukazi we eyali amugoberera, n'atunula emabega, n'afuuka empagi y'omunnyo.#Laba ne Luk 17:32
27Aburahamu n'akeera enkya ku makya, n'alaga mu kifo mwe yayimirira mu maaso ga Mukama, 28n'atunuulira Sodoma ne Gomora, n'ensi ey'olusenyi, n'alengera omukka nga gunyooka ku nsi nga guli ng'ogw'ekikoomi. 29Naye Katonda bwe yali azikiriza ebibuga eby'omu lusenyi, Looti mwe yabeeranga, n'ajjukira Aburahamu, n'akkiriza Looti abiveemu.
Ensibuko y'Abamowaabu n'Abammoni
30Looti yatya okusigala mu Zowari, kyeyava ayambuka ku lusozi, n'abeeranga mu mpuku wamu ne bawala be bombi. 31Omuwala omukulu n'agamba omuto nti: “Kitaffe akaddiye, ate tewali musajja mu nsi eno wa kutuwasa ng'empisa y'ensi yonna bw'eri. 32Kale tunywese kitaffe omwenge atamiire, tulyoke twebake naye atuzaalemu abaana, tukuume ezzadde lye.” 33Era ekiro ekyo, ne banywesa kitaabwe omwenge, omuwala omukulu n'ayingira ne yeegatta naye. Kyokka kitaabwe yali atamidde nnyo, n'atakimanya.
34Ku lunaku olwaddako, omuwala omukulu n'agamba omuto nti: “Ekiro nze neebase naye. Era tumunywese omwenge ekiro kino, naawe weebake naye, atuzaalemu abaana, tukuume ezzadde lye.” 35Era ekiro ekyo, ne banywesa kitaabwe omwenge, n'omuwala omuto n'agenda ne yeegatta naye. Kitaabwe era yali atamidde nnyo, n'atakimanya. 36Bwe batyo abaana ba Looti bombi abawala, ne baba embuto za kitaabwe. 37Omuwala omukulu n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya Mowaabu.#19:37 Mowaabu: Mu Lwebureeyi, livuga ng'ekigambo ekitegeeza “Eyava mu kitange.” Oyo ye jjajja w'Abamowaabu abaliwo na kati. 38N'omuto naye n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya Benammi.#19:38 Benammi: Mu Lwebureeyi litegeeza “Omwana ow'owooluganda,” era livuga nga “Omwammoni.” Oyo ye jjajja w'Abammoni abaliwo na kati.
Currently Selected:
ENTANDIKWA 19: LBwD03
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

: