ENTANDIKWA 21
21
Okuzaalibwa kwa Yisaaka
1Mukama n'awa Saara omukisa, nga bwe yali asuubizza. 2Saara n'aba olubuto, n'azaalira Aburahamu omwana ow'obulenzi nga Aburahamu akaddiye, mu biro Katonda bye yamutegeezaako.#Laba ne Beb 11:11 3Aburahamu n'atuuma omwana oyo erinnya Yisaaka.#21:3 Yisaaka: Mu Lwebureeyi “Isaak,” kwe kugamba nti “Aseka.” Laba ne mu 17:17-19; 21:6. 4Yisaaka bwe yaweza ennaku omunaana, Aburahamu n'amukomola, nga Katonda bwe yamulagira.#Laba ne Nta 17:12; Bik 7:8 5Aburahamu yali awezezza emyaka kikumi, omwana we Yisaaka okuzaalibwa. 6Saara n'agamba nti: “Katonda ansesezza. Buli anaawuliranga kino, anaasekeranga wamu nange.” 7Era n'agamba nti: “Ani eyandigambye Aburahamu nti Saara oliyonsa abaana? Naye kati mmuzaalidde omwana ow'obulenzi, nga Aburahamu akaddiye.”
8Omwana Yisaaka n'asuumuka n'ava ku mabeere, era ku lunaku lwe yaviirako ku mabeere, Aburahamu n'afumba embaga nnene.
Agari ne Yisimayeli bagobebwa
9Awo Saara n'alaba Yisimayeli, omwana Agari gwe yazaalira Aburahamu, ng'azannya ne Yisaaka. 10Saara n'agamba Aburahamu nti: “Goba omuzaana ono n'omwana we, kubanga omwana w'omukazi ono omuzaana tajja kugabana ku bya busika bwa mwana wange Yisaaka.”#Laba ne Bag 4:29-30 11Ekyo ne kinakuwaza nnyo Aburahamu, kubanga ne Yisimayeli mwana we. 12Naye Katonda n'agamba Aburahamu nti: “Leka kunakuwala olw'omulenzi n'olw'omuzaana wo. Kola byonna Saara by'akugamba, kubanga mu Yisaaka mw'olifunira abazzukulu be nakusuubiza.#Laba ne Bar 9:7; Beb 11:18 13Era omwana w'omuzaana naye ndimufuula eggwanga, kubanga naye mwana wo.”
14Aburahamu n'agolokoka enkya ku makya, n'addira emigaati n'ensawo ey'eddiba ejjudde amazzi, n'abiwa Agari ng'abimuteeka ku kibegabega, n'omwana, n'amugamba nti: “Genda.” Agari n'agenda, n'abundabundira mu ddungu ery'e Beruseba. 15Amazzi bwe gaggwaamu mu nsawo ey'eddiba, n'assa omwana mu kisaka, 16n'agenda n'atuula walako ng'amutunuulira, mu bbanga lya mita nga kikumi, kubanga yagamba nti: “Ka nneme okulaba omwana ng'afa!” Bwe yatuula n'amutunuulira, n'ayimusa eddoboozi lye n'akaaba.#21:16 n'akaaba: Mu Luyonaani omwana ye yakaaba, mu Lwebureeyi Agari ye yakaaba.
17Katonda n'awulira eddoboozi ly'omulenzi, era malayika wa Katonda n'ayita Agari ng'asinziira mu ggulu, n'amugamba nti: “Obadde ki, Agari? Totya, kubanga Katonda awulidde eddoboozi ly'omulenzi. 18Situka ositule omulenzi omukwate mu mikono gyo. Ndimufuula eggwanga eddene.”
19Awo Katonda n'azibula amaaso ga Agari, n'alaba oluzzi. N'agenda, n'ajjuza ensawo ey'eddiba amazzi, era n'awa omulenzi okunywa. 20Katonda n'aba wamu n'omulenzi. Omulenzi n'akula, n'abeeranga mu ddungu, n'afuuka omulasi w'obusaale. 21Mu ddungu ery'e Palani, gye yabeeranga. Nnyina n'amuwasiza omukazi mu nsi y'e Misiri.
Aburahamu akola ne Abimeleki endagaano
22Awo mu biro ebyo Abimeleki ng'ali wamu ne Fikoli omuduumizi w'eggye lye, n'agenda eri Aburahamu n'amugamba nti: “Katonda ali wamu naawe mu byonna by'okola.#Laba ne Nta 26:26 23Kale nno ndayirira wano mu maaso ga Katonda nti tonkuusekuusenga nze n'abaana bange, wadde bazzukulu bange. Naye nga bwe nkukoledde eby'ekisa, ndayirira nti onookolanga bw'otyo gye ndi n'eri ensi mw'oli.” 24Aburahamu n'agamba nti: “Ndayira.”
25Awo Aburahamu ne yeemulugunyiza Abimeleki olw'oluzzi, abaweereza ba Abimeleki lwe baamuggyako olw'empaka. 26Abimeleki n'agamba nti: “Eyakola ekyo simumanyi, naawe tokimbuulirangako. Olwaleero lwe nsoose okukiwulira.”
27Aburahamu n'addira endiga n'ente, n'abiwa Abimeleki, ne bakola bombi endagaano. 28Aburahamu n'ayawulamu mu kisibo kye endiga enduusi musanvu. 29Abimeleki n'amubuuza nti: “Endiga ezo enduusi omusanvu z'oyawuddeko, zitegeeza ki?” 30Aburahamu n'addamu nti: “Kkiriza nkuwe endiga ezo enduusi omusanvu, ekyo kiryoke kikakase ng'okkirizza nti nze nasima oluzzi olwo.” 31Ekifo ekyo kyekyava kiyitibwa Beruseba,#21:31 Beruseba: Mu Lwebureeyi litegeeza “Oluzzi lw'obweyamo” oba “Oluzzi lw'omusanvu.” Laba ne mu 26:33. kubanga eyo bombi gye baalagaanira.
32Bwe baamala okukola endagaano e Beruseba, Abimeleki ne Fikoli omuduumizi w'eggye lye ne baddayo mu nsi y'Abafilistiya. 33Aburahamu n'asimba omuti omunyulira mu Beruseba, n'asinziza eyo Mukama Katonda ow'emirembe gyonna. 34Aburahamu n'abeera mu nsi y'Abafilistiya, ebbanga ddene.
Currently Selected:
ENTANDIKWA 21: LBwD03
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

: