YOWANNE 6
6
Yesu akkusa abantu enkumi ttaano
(Laba ne Mat 14:13-21; Mak 6:30-44; Luk 9:10-17)
1Ebyo bwe byaggwa, Yesu n'alaga emitala w'ennyanja ey'e Galilaaya, ey'e Tiberiya. 2Abantu bangi nnyo ne bamugoberera, kubanga baalaba ebyewuunyo bye yakola, mu kuwonya abalwadde. 3Yesu n'alinnya ku lusozi, n'atuula eyo wamu n'abayigirizwa be. 4Embaga y'Abayudaaya Ejjuukirirwako Okuyitako, yali kumpi okutuuka.
5Yesu bwe yasitula amaaso, n'alaba abantu bangi nnyo nga bajja gy'ali, n'agamba Filipo nti: “Tunaagula wa emmere, abantu bano gye banaalya?” 6Ekyo yakyogera kumugeza, ye ng'amanyi ky'agenda okukola.
7Filipo n'amuddamu nti: “Emmere egula denaari ebikumi ebibiri#6:7 Denaari ebikumi ebibiri: Denaari emu yali yenkana omusaala gw'omupakasi ogw'olunaku. N'olwekyo wano ensimbi ezoogerwako zandibadde za musaala gwa nnaku ebikumi bibiri. teyinza kubabuna, buli muntu okulyako wadde akatono.”
8Omulala ku bayigirizwa be, Andereya muganda wa Simooni Peetero, n'amugamba nti: 9“Wano waliwo omulenzi alina emigaati etaano egya bbaale, n'ebyennyanja bibiri. Naye bino binaagasa ki, ku bantu abangi bwe bati?”
10Yesu n'agamba nti: “Mutuuze abantu.” Waaliwo essubi lingi mu kifo ekyo. Awo abantu bonna ne batuula. Abasajja baali ng'enkumi ttaano. 11Awo Yesu n'atoola emigaati, ne yeebaza Katonda, n'agigabira abantu abatudde. Ne ku byennyanja n'akola bw'atyo. Bonna ne bafuna nga bwe baagala.
12Bwe baamala okukkuta, n'agamba abayigirizwa be nti: “Mukuŋŋaanye obutundutundu obusigaddewo, buleme kwonooneka.” 13Ne babukuŋŋaanya, ne bajjuza ebibbo kkumi na bibiri eby'obutundutundu obw'emigaati etaano egya bbaale, obwasigalawo nga bamaze okulya.
14Abantu bwe baalaba ekyewuunyo Yesu kye yakola, ne bagamba nti: “Ddala ono ye mulanzi alindirirwa okujja mu nsi!” 15Yesu bwe yategeera nga baali banaatera okujja okumukwata bamufuule kabaka, n'addayo ku lusozi, n'abeera eyo yekka.
Yesu atambula ku mazzi
(Laba ne Mat 14:22-33; Mak 6:45-52)
16Obudde bwe bwawungeera, abayigirizwa be ne baserengeta ku nnyanja, 17ne basaabala mu lyato, ne bawunguka okugenda e Kafarunawumu. Obudde bwali nga buzibye, ate nga ne Yesu tannajja gye bali. 18Awo omuyaga ne gukunta mungi, ennyanja n'esiikuuka.
19Bwe baamala okuvugako kilomita nga nnya oba ttaano, ne balaba Yesu ng'atambula ku mazzi, ng'asemberera eryato, ne batya. 20Ye n'abagamba nti: “Ye Nze,#6:20 Ye Nze: Ye njogera eyagala okuggyayo amakulu agagamba nti “NZE NDI” nga Katonda bwe yeeyogerako mu Okuva 3:14, ng'abuulira Musa, eyabuuza okumanya erinnya lya Katonda. Katonda yalagira Musa abagambe nti: “NDI ye antumye gye muli.” Enjogera eyo Yesu ali ng'agikozesa okulaga obwakatonda bwe. (Laba ne 4:26, 8:24,28; 13:19 ne 18:5). temutya!” 21Baali baagala okumuyingiza mu lyato, amangwago eryato ne ligoba ku ttale gye baali bagenda.
Abantu banoonya Yesu
22Ku lunaku olwaddirira, abantu bangi abaali basigadde emitala w'ennyanja, ne balaba nga waliwo eryato limu, era ne bamanya nga Yesu yali tasaabadde mu lyato wamu n'abayigirizwa be, wabula abayigirizwa be nga baagenze bokka. 23Awo amaato amalala ne gava e Tiberiya, ne gagoba okumpi n'ekifo abantu we baaliira emigaati, nga Mukama waffe amaze okwebaza Katonda. 24Abantu bwe baalaba nga Yesu taliiwo, wadde abayigirizwa be, nabo ne basaabala mu maato, ne bajja e Kafarunawumu nga bamunoonya.
Yesu ye mmere ey'obulamu
25Abantu bwe baasanga Yesu emitala w'ennyanja, ne bamubuuza nti: “Muyigiriza, wazze ddi wano?”
26Yesu n'abaddamu nti: “Mazima ddala mbagamba nti munnoonya si lwa kubanga mwalaba ebyewuunyo bye nkola, naye lwa kubanga mwalya emigaati ne mukkuta. 27Muleme kuteganira mmere eggwaawo, naye muteganire emmere ey'olubeerera, ewa abantu obulamu obutaggwaawo, Omwana w'Omuntu gy'alibawa. Katonda Kitaawe yamussaako akabonero akalaga obuyinza bwe.”
28Awo ne bamubuuza nti: “Tukole ki okutuukiriza ebyo Katonda by'ayagala?” 29Yesu n'abaddamu nti: “Katonda ky'ayagala mukole, kwe kukkiriza oyo gwe yatuma.”
30Ne bamugamba nti: “Kyewuunyo ki ggwe ky'okola, tukirabe tulyoke tukkirize? Kiruwa ky'okola? 31Bajjajjaffe baalya mannu mu ddungu, nga bwe kyawandiikibwa nti: ‘Yabawa omugaati oguva mu ggulu balye.’ ”#Laba ne Kuv 16:4,15; Zab 78:24
32Awo Yesu n'abagamba nti: “Mazima ddala mbagamba nti Musa si ye yabawa omugaati oguva mu ggulu, wabula Kitange ye abawa omugaati ddala oguva mu ggulu, 33kubanga omugaati Katonda gw'agaba, gwe gwo oguva mu ggulu, era oguleetera abantu obulamu.”
34Awo bo ne bamugamba nti: “Ssebo, tuwenga bulijjo omugaati ogwo.” 35Yesu n'abagamba nti: “Nze mugaati ogw'obulamu. Ajja gye ndi talumwa njala. Anzikiriza talumwa nnyonta n'akatono.
36“Nabagamba dda nti mundabye ne mutakkiriza. 37Buli muntu Kitange gw'ampa, alijja we ndi, era buli ajja gye ndi, sirimugobera bweru n'akatono, 38kubanga nava mu ggulu okukola eyantuma ky'ayagala, sso si nze kye njagala. 39Kino eyantuma ky'ayagala, ku bonna be yampa, nneme kufiirwako n'omu, wabula bonna mbazuukize ku lunaku olw'enkomerero. 40Kitange ky'ayagala kye kino: buli alaba nze Omwana we n'anzikiriza, abe n'obulamu obutaggwaawo, era ndimuzuukiza ku lunaku olw'enkomerero.”
41Awo Abayudaaya ne beemulugunyiza Yesu kubanga yagamba nti: “Nze mugaati ogwava mu ggulu.” 42Ne bagamba nti: “Ono si ye Yesu omwana wa Yosefu? Kitaawe ne nnyina tubamanyi. Kale ayinza atya okugamba nti: ‘Nava mu ggulu?’ ”
43Yesu n'abaddamu nti: “Muleke kwemulugunya. 44Tewali ayinza kujja gye ndi wabula nga Kitange eyantuma ye amusise, ate nze ndimuzuukiza ku lunaku olw'enkomerero. 45Kyawandiikibwa mu kitabo ky'abalanzi nti: ‘Bonna Katonda alibayigiriza.’ Buli eyawulira Kitange n'ayiga, ajja gye ndi.#Laba ne Yis 54:13 46Si kwe kugamba nti waliwo eyali alabye Kitange. Oyo eyava ewa Katonda ye yekka eyalaba Kitange.
47“Mazima ddala mbagamba nti oyo akkiriza, aba n'obulamu obutaggwaawo. 48Nze mugaati ogw'obulamu. 49Bajjajjammwe baalya mannu mu ddungu, ne bafa. 50Guno gwe mugaati oguva mu ggulu, buli agulyako aleme kufa. 51Nze mugaati oguwa obulamu ogwava mu ggulu. Omuntu bw'alya ku mugaati guno, aliba mulamu emirembe n'emirembe. Era omugaati gwe ndigaba okuwa abantu obulamu, gwe mubiri gwange.”
52Awo Abayudaaya ne bawakana bokka na bokka nga bagamba nti: “Ono ayinza atya okutuwa omubiri gwe okugulya?”
53Yesu n'abagamba nti: “Mazima ddala mbagamba nti bwe mutalya mubiri gwa Mwana wa Muntu, era bwe mutanywa musaayi gwe, mu mmwe temuba na bulamu. 54Oyo alya omubiri gwange, era anywa omusaayi gwange, aba n'obulamu obutaggwaawo. Era ndimuzuukiza ku lunaku olw'enkomerero. 55Omubiri gwange kyakulya ddala, n'omusaayi gwange kyakunywa ddala.
56“Alya omubiri gwange, era anywa omusaayi gwange, aba mu nze, nange ne mba mu ye. 57Nga nze eyatumibwa Kitange bwe ndi omulamu ku bwa Kitange, n'oyo andya aliba mulamu ku bwange. 58Guno gwe mugaati ogwava mu ggulu. Teguli ng'ogwo bajjajjammwe gwe baalya ne bafa. Alya omugaati guno, aliba mulamu emirembe n'emirembe.”
59Ebyo Yesu yabyogera ng'ayigiriza mu kuŋŋaaniro e Kafarunawumu.
Ebigambo eby'obulamu obutaggwaawo
60Awo bangi ku bayigirizwa be bwe baawulira, ne bagamba nti: “Ekigambo ekyo nga kizibu! Ani ayinza okukiwuliriza?”
61Yesu bwe yategeera ng'abayigirizwa be beemulugunya olw'ekyo, n'abagamba nti: “Ekyo kibeesittaza? 62Kale ate bwe muliraba Omwana w'Omuntu ng'alinnya gye yali olubereberye? 63Omwoyo gwe guwa obulamu, omubiri teguliiko kye gugasa. Ebigambo bye mbagambye gwe mwoyo era bwe bulamu. 64Naye waliwo ku mmwe abatakkiriza.” (Okuviira ddala mu kusooka, Yesu yamanya abo abatakkiriza, era yamanya agenda okumulyamu olukwe). 65Awo n'agamba nti: “Kyenvudde mbagamba nti: ‘Tewali ayinza kujja gye ndi, wabula nga Kitange ye amusobozesezza okujja.’ ”
66Okuva olwo bangi ku bayigirizwa be ne bamuvaako, ne bataddayo kuyitanga naye. 67Awo Yesu n'abuuza abayigirizwa be ekkumi n'ababiri nti: “Nammwe mwagala kugenda?”
68Simooni Peetero n'amuddamu nti: “Mukama waffe, tunaagenda eri ani? Ggwe olina ebigambo eby'obulamu obutaggwaawo.#Laba ne Mat 16:16; Mak 8:29; Luk 9:20 69Ffe tukkiriza, era tumanyi nga ggwe Mutuukirivu wa Katonda.”
70Yesu n'abaddamu nti: “Si nze nabalonda mmwe ekkumi n'ababiri? Naye omu ku mmwe Sitaani!” 71Yayogera ku Yuda, omwana wa Simooni Yisikaryoti, kubanga ye yali agenda okumulyamu olukwe, newaakubadde nga yali omu ku bayigirizwa ekkumi n'ababiri.
Currently Selected:
YOWANNE 6: LBwD03
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

: