EKY'ABALEEVI 11
11
Ensolo ezikkirizibwa n'ezizira okuliibwa
(Laba ne Ma 14:3-21)
1Mukama n'agamba Musa ne Arooni 2bategeeze Abayisirayeli nti: “Bino bye biramu bye munaalyanga ku nsolo zonna eziri ku nsi. 3Buli nsolo erina ebinuulo ebyawulemu era ezza obwenkulumu, eyo gye munaalyanga. 4-6Naye temuulyenga ŋŋamiya, n'omusu, n'akamyu. Munaabibaliranga mu bitali birongoofu, kubanga newaakubadde bizza obwenkulumu, naye tebirina binuulo byawulemu. 7Era temuulyenga mbizzi. Munaagibaliranga mu bitali birongofu, kubanga newaakubadde erina ebinuulo ebyawulemu, naye tezza bwenkulumu. 8Temuulyenga ku nsolo ezo, wadde okuzikoonangako nga zifudde. Si nnongoofu.
9“Munaayinzanga okulya buli kyannyanja ekirina amaggwa n'amagalagamba. 10Naye buli kiramu ekibeera mu mazzi ekitalina maggwa na magalagamba, kinaabanga kya muzizo gye muli. 11Ebyo munaabizizanga. Temuubiryengako, wadde okubikoonangako nga bifudde. 12Buli kibeera mu mazzi ekitalina maggwa na magalagamba, kinaabanga kya muzizo gye muli.
13“Mu binyonyi bye munaazizanga era bye mutaalyenga, mwe muli ennunda, n'empungu, ne makwanzi, 14ne kamunye, n'eddiirawamu n'ebirala ebiri mu bika byalyo; 15ne nnamuŋŋoona owa buli kika; 16ne mmaaya, n'olubugabuga, n'olusove, n'enkambo n'ebirala ebiri mu kika kyayo, 17n'ekiwuugulu, n'enkobyokkoobyo, n'ekkukufu, 18n'ekiwuugulu eky'amatu, ne kimbala, n'ensega; 19ne kasida, ne mpaabaana n'ebirala ebiri mu kika kye, n'ekkookootezi, n'ekinyira.
20“Munaazizanga ebiwuka byonna ebirina ebiwaawaatiro, ebitambuza amagulu ana, 21okuggyako ebyo ebibuukabuuka ku magulu gaabyo ku ttaka. 22Munaayinzanga okulya enzige n'enseenene, n'ejjanzi, n'ebirala eby'ebika ebyo. 23Naye ebiwuka byonna ebirala ebirina ebiwaawaatiro, n'amagulu ana, munaabizizanga.
24“Ebisolo bino bye binaabafuulanga abatali balongoofu. Buli anaakoonanga ku mulambo gwabyo, anaasigalanga si mulongoofu okutuusa akawungeezi, 25na buli anaasitulanga omulambo gwabyo, anaayozanga ebyambalo bye, era anaasigalanga si mulongoofu okutuusa akawungeezi: 26buli nsolo erina ebinuulo naye nga si byawulemu era nga tezza bwenkulumu, munaagibaliranga mu zitali nnongoofu. Buli anaagikoonangako ng'efudde, taabenga mulongoofu. 27Era buli nsolo ey'amagulu ana erina amaala, munaagibaliranga mu zitali nnongoofu. Buli anaagyekoonangako, anaasigalanga si mulongoofu okutuusa akawungeezi. 28Oyo anaasitulanga omulambo gw'ensolo eyo, anaayozanga ebyambalo bye, era anaasigalanga si mulongoofu okutuusa akawungeezi. Ensolo ezo munaazibaliranga mu zitali nnongoofu.
29“Mu bitambulira ku ttaka nga byewalula, na bino munaabibaliranga mu bitali birongoofu: eggunju, n'emmese, n'ekkonkome eddene n'ebirala ebiri mu kika kyalyo, 30n'ekinya, enswaswa, n'omunya, n'ekkonkome, ne nnawolovu. 31Ebyo munaabibaliranga mu bitali birongoofu mu byonna ebyewalula. Buli anaabikoonangako nga bifudde, taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi. 32Era buli kintu ekinagwibwangako ebintu ebyo nga bifudde, ka kibe kya muti, oba ka kibe lugoye, oba ddiba, oba nsawo, oba ekirala kyonna ekikozesebwa, tekiibenga kirongoofu. Kinaateekwanga okunnyikibwa mu mazzi, naye ne kisigala nga si kirongoofu okutuusa akawungeezi, ne kiryoka kiba ekirongoofu. 33Singa bigwa mu kintu eky'ebbumba, byonna ebirimu tebiibenga birongoofu, era eky'ebbumba ekyo kinaayasibwanga. 34Buli kyakulya ekyandisobodde okuliika, naye ne kiyiibwako amazzi agavudde mu ky'ebbumba ekyo, tekiibenga kirongoofu, era buli kyakunywa mu ky'ebbumba ekyo, tekiibenga kirongoofu. 35Buli kintu ekinaagwibwangako ebintu ebyo nga bifudde, tekiibenga kirongoofu: oba kyoto, oba masiga ga ntamu, binaamenyebwanga. Si birongoofu, era munaabizizanga. 36Naye oluzzi oba ttanka erimu amazzi, binaabanga birongoofu, newaakubadde ng'ekirala kyonna ekikoona ku bintu ebyo nga bifudde tekiba kirongoofu. 37Singa ekimu ku byo ekifudde kigwa ku nsigo egenda okusigibwa, ensigo esigala nnongoofu. 38Naye singa ensigo eba ennyikiddwa mu mazzi, ekimu ku byo ekifudde ne kigwa ku yo, ensigo eyo temuugiyitenga nnongoofu.
39“Singa ensolo eyinza okuliibwa efa, buli agikoonako taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi. 40Ate oyo anaagiryangako, anaayozanga ebyambalo bye era taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi. N'oyo anaagisitulanga ng'efudde, anaayozanga ebyambalo bye, era anaasigalanga si mulongoofu okutuusa akawungeezi.
41“Munaazizanga obusolo obutono obutambula ku nsi, temuubulyenga, 42oba bwewalula, oba butambuza amagulu ana, oba bulina amagulu mangi. 43Temweyonoonanga na byewalula ebyo, era temwefuulanga batali balongoofu olw'ebitonde ebyo. 44Nze Mukama Katonda wammwe. Mubeerenga batuukirivu, kubanga nze ndi mutuukirivu. Temwejaajaamyanga olw'ekintu n'ekimu ekyekululira ku ttaka.#Laba ne Leev 19:2; 1 Peet 1:16 45Nze Mukama eyabaggya mu nsi y'e Misiri, ndyoke mbenga Katonda wammwe. Kale mubeerenga batuukirivu, kubanga nze ndi mutuukirivu.
46“Lino lye tteeka erifa ku nsolo ne ku binyonyi, ne ku buli kiramu ekibeera mu mazzi, ne ku buli kiramu ekitambula ku ttaka, 47ery'okwawula ebirongoofu ku bitali birongoofu, n'okwawula ebiramu ebikkirizibwa okuliibwa, ku bitakkirizibwa.”
Currently Selected:
EKY'ABALEEVI 11: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

: