YouVersion Logo
Search Icon

EKY'ABALEEVI 14

14
Etteeka ery'okutukuza abawonye ebigenge
1Mukama n'agamba Musa nti: 2“Lino lye tteeka erinaagobererwanga mu kutukuza awonyezeddwa endwadde y'ebigenge. Ku lunaku lw'anaalangirirwangako nti mulongoofu, anaaleetebwanga eri kabona,#Laba ne Mat 8:4; Mak 1:44; Luk 5:14; 17:14 3kabona n'amufulumya olusiisira,n'amukebera. 4Endwadde y'ebigenge bw'eneebanga ewonye, kabona oyo anaalagiranga okuleeta ebinyonyi bibiri ebiramu era ebirongoofu, n'omuti omwerezi, n'ekiwuzi ky'olugoye olumyufu, n'akati akayitibwa yisopu. 5Awo kabona anaalagiranga okuttira ekimu ku binyonyi ebyo mu kibya eky'ebbumba, omuli amazzi agavudde mu nsulo ezikulukuta. 6Anaddiranga ekinyonyi ekiramu, awamu n'omuti omwerezi, n'olugoye olumyufu, n'akati akayitibwa yisopu, n'abinnyika mu musaayi gw'ekinyonyi ekittiddwa.
7“Anaamansiranga omusaayi emirundi musanvu ku oyo agenda okutukuzibwako endwadde y'ebigenge, n'alyoka amulangirira nti mulongoofu. N'ata ekinyonyi ekiramu, ne kibuukira mu bbanga mu ttale. 8Omuntu oyo agenda okutukuzibwa anaayozanga ebyambalo bye, n'amwako enviiri ze zonna, n'anaaba, olwo n'abalibwa nga mulongoofu, n'alyoka ayingira mu lusiisira. Kyokka anaamalanga ennaku musanvu ng'ali bweru w'eweema ye. 9Ku lunaku olw'omusanvu nate anaamwangako enviiri ze zonna, n'ekirevu n'ebisige, n'obwoya bwonna ku mubiri gwe. Era anaayozanga ebyambalo bye, n'anaaba omubiri, olwo n'abalibwa nti mulongoofu.
10“Ku lunaku olw'omunaana anaaleetanga abaana b'endiga babiri aba sseddume, n'endiga enduusi emu ey'omwaka ogumu, zonna nga teziriiko kamogo, ne kilo ssatu ez'obuwunga bw'eŋŋaano obukuŋŋuntiddwa obulungi, obutabuddwamu omuzigo gw'ebibala by'emizayiti, n'aleeta n'ekimu ekyokusatu ekya lita y'omuzigo gw'ebibala by'emizayiti. 11Kabona anaateekanga omuntu oyo n'ebintu ebyo mu maaso ga Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama. 12Awo kabona anaddiranga emu ku ndiga ento eza sseddume, awamu n'ekimu ekyokusatu ekya lita y'omuzigo ogw'emizayiti, n'abiwaayo ng'omutango, n'abiwuuba, ne biba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama. 13Awo anattiranga endiga eyo ento mu Kifo Ekitukuvu awattirwa ensolo ez'ebiweebwayo olw'ekibi, n'ez'ebiweebwayo ebyokebwa. Anaakolanga bw'atyo kubanga ekiweebwayo olw'omutango, okufaanana ng'ekiweebwayo olw'ekibi, kiba kya kabona era kitukuvu nnyo.
14“Kabona anaatoolanga ku musaayi gw'ekiweebwayo ng'omutango, n'aguteeka ku nsonda y'okutu okwa ddyo ne ku kinkumu eky'oku mukono ogwa ddyo, ne ku kigere ekisajja ekya ddyo, eby'oyo agenda okulangirirwa nti mulongoofu. 15Kabona anaatoolanga ku muzigo ogw'ebibala by'emizayiti, n'agufuka mu kibatu ekikye kyennyini ekya kkono, 16n'annyika olunwe lwe olwa ddyo mu muzigo ogwo oguli mu kibatu kye ekya kkono, n'agumansira emirundi musanvu awo mu maaso ga Mukama. 17Anaatoolanga ku muzigo ogusigaddewo mu kibatu kye, ne ku musaayi gw'ekiweebwayo ng'omutango, n'aguteeka ku nsonda y'okutu okwa ddyo, ne ku kinkumu eky'oku mukono ogwa ddyo, era ne ku kigere ekisajja eky'okugulu okwa ddyo, eby'oyo agenda okulangirirwa nti mulongoofu. 18Omuzigo ogusigadde mu kibatu kye, anaaguteekanga ku mutwe gw'oyo agenda okulangirirwa nti mulongoofu. Mu ngeri eyo kabona anaddaabirizanga ku lw'omuntu oyo mu maaso ga Mukama.
19“Kabona anaawangayo ekiweebwayo olw'ekibi, n'addaabiriza olw'oyo agenda okuggyibwako obutali bulongoofu. Oluvannyuma anattanga ensolo ey'ekiweebwayo ekyokebwa, 20n'akiwaayo ku alutaari wamu n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke. Bw'atyo kabona anaddaabirizanga olw'omuntu oyo, omuntu oyo n'aba mulongoofu.
21“Bw'anaabanga omwavu atasobola kufuna byenkana awo, anaaleetanga omwana gw'endiga ogwa sseddume gube ogw'omutango. Gunaabanga ekiweebwayo eri Mukama nga kiwuubibwa, ekitwalibwa kabona. Anaaleetanga kilo emu ey'obuwunga bw'eŋŋaano, obutabuddwamu omuzigo gw'ebibala by'emizayiti. 22Era anaaleetanga enjiibwa bbiri, oba amayiba amato abiri. Ejjiba erimu linaabanga ekiweebwayo olw'ekibi, n'eddala ekiweebwayo ekyokebwa. 23Ku lunaku olw'omunaana olw'okutukuzibwa kwe, anaagaleetanga eri kabona, mu maaso ga Mukama, ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama.
24“Kabona anaddiranga omwana gw'endiga oguweebwayo olw'ekibi, n'omuzigo ogw'ebibala by'emizayiti, n'abiwaayo eri Mukama ng'abiwuuba, ne biba ekiweebwayo ekiwuubibwa, ekitwalibwa kabona. 25Anattanga omwana gw'endiga ogwo, n'atoola ku musaayi gwagwo n'aguteeka ku nsonda y'okutu okwa ddyo, ne ku kinkumu eky'omukono ogwa ddyo ne ku kigere ekisajja ekya ddyo eby'oyo agenda okulangirirwa nti mulongoofu. 26Awo kabona anaafukanga ku muzigo mu kibatu ekikye kyennyini ekya kkono, 27n'agumansira n'olunwe lwe olwa ddyo emirundi musanvu awo mu maaso ga Mukama. 28Anaatoolanga ku muzigo ogwo, n'aguteeka ku nsonda y'okutu okwa ddyo, ne ku kinkumu eky'oku mukono ogwa ddyo, ne ku kigere ekisajja eky'okugulu okwa ddyo eby'oyo agenda okulangirirwa nti mulongoofu. 29Omuzigo ogusigadde mu kibatu kye anaaguteekanga ku mutwe gw'oyo agenda okulangirirwa nti mulongoofu, okuddaabiriza ku lulwe mu maaso ga Mukama. 30Awo anaawangayo emu ku njiibwa, oba erimu ku mayiba amato, oli bw'aba nga g'asobodde okufuna, ne liba 31ekiweebwayo olw'ekibi, n'eddala ne liba ekiweebwayo ekyokebwa. Bw'atyo kabona anaddaabirizanga olw'oyo agenda okulangirirwa nti mulongoofu. 32Eryo lye tteeka ku oyo alina endwadde y'ebigenge, atasobola kufuna byetaagibwa ebya bulijjo mu kutukuzibwa kwe.”
Ebigenge mu nnyumba
33Mukama n'agamba Musa ne Arooni nti: 34“Bwe muliba nga mutuuse mu nsi y'e Kanaani, gye mbawa mmwe okuba obutaka bwammwe, bwe nnaateekanga endwadde y'ebigenge mu nnyumba mu nsi eyo ebaweebwa, 35nnannyini nnyumba eyo anajjanga n'abuulira kabona nti: ‘Ennyumba yange enfaananira okubaamu endwadde y'ebigenge.’ 36Kabona nga tannayingira kukebera ndwadde ya bigenge, anaalagiranga okufulumya buli kintu mu nnyumba eyo, bireme kufuuka ebitali birongoofu. Olwo kabona anaayingiranga ennyumba, 37okukebera endwadde y'ebigenge. Bwe wanaabangawo amabala aga kiragalalagala, oba amamyukirivu, agalabika nga galya ekisenge, 38kabona anaavanga mu nnyumba, n'agiggala okumala ennaku musanvu. 39Ku lunaku olw'omusanvu anaakomangawo n'akebera. Endwadde bw'eneebanga ebunye, 40anaalagiranga okuggyamu amayinja agaliko endwadde, n'okugasuula ebweru w'ekibuga mu kifo awasuulibwa ebitali birongoofu. 41Era anaalagiranga ne bakokota ennyumba munda enjuyi zonna, langi ekolokoteddwamu n'esuulibwa ebweru w'ekibuga mu kifo awasuulibwa ebitali birongoofu. 42Ne baddira amayinja amalala ne bagazimba mu kifo kya gali agaggyiddwamu, era ne baddira langi endala ne bagisiiga ku bisenge.
43“Awo endwadde bw'eddangamu okufuutuuka mu nnyumba ng'amayinja gamaze okuggyibwamu, nga n'ebisenge bikolokoteddwa ne bisiigibwa langi, 44kabona anaayingiranga n'akebera. Endwadde bw'eneebanga ebunye, ebyo nga bye bigenge ebirya ennyumba, era teebenga nnongoofu. 45Eneeyabizibwanga, amayinja gaayo n'emiti ne langi yaayo yonna binaatwalibwanga ebweru w'ekibuga mu kifo awasuulibwa ebitali birongoofu. 46Era buli anaayingiranga mu nnyumba eyo ng'ekyaggaliddwawo, taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi. 47Buli anaasulanga mu nnyumba eyo oba buli anaaliirangamu, anaayozanga ebyambalo bye.
48“Kabona bw'anaayingiranga n'alaba ng'endwadde tezzeemu kulabika ng'ennyumba emaze okusiigibwako langi, anaalangiriranga nti ennyumba eyo nnongoofu, kubanga endwadde ewonye. 49Okutukuza ennyumba, anaakozesanga ebinyonyi bibiri, n'omuti omwerezi, n'olugoye olumyufu, n'akati akayitibwa yisopu. 50Anattiranga ekimu ku binyonyi ebyo mu kibya eky'ebbumba, omuli amazzi agavudde mu nsulo ezikulukuta. 51Anaddiranga omuti omwerezi, n'akati akayitibwa yisopu, n'ekinyonyi ekiramu, n'abinnyika mu musaayi gw'ekinyonyi ekittiddwa, ne mu mazzi agavudde mu nsulo ezikulukuta. Anaamansiranga ennyumba emirundi musanvu. 52Bw'atyo anaatukuzanga ennyumba ng'akozesa omusaayi gw'ekinyonyi, n'amazzi amalungi, n'omuti omwerezi, n'akati akayitibwa yisopu, era n'olugoye olumyufu. 53Anaatanga ekinyonyi ekiramu ne kibuuka mu bbanga okuva mu kibuga, ne kigenda mu ttale. Bw'atyo bw'anaatukuzanga ennyumba n'eba nnongoofu.
54“Ago ge mateeka ku ndwadde zonna ez'ebigenge, 55-56era ge mateeka ku bizimba, n'amayute, n'embalabe ezirungudde, n'ebigenge mu ngoye ne mu mayumba.#Laba ne 13:2,47-49 57Ge ganaagobererwanga okusalawo ku birongoofu, ne ku bitali birongoofu.”

Currently Selected:

EKY'ABALEEVI 14: LBwD03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in