EKY'ABALEEVI 15
15
Ebiva mu mubiri ebitali birongoofu
1Mukama n'agamba Musa ne Arooni nti: 2“Mwogere n'Abayisirayeli mubategeeze nti buli musajja alwadde enziku, taabenga mulongoofu olw'enziku ye gy'alwadde, 3oba ng'emuleetera okutonnya, omusulo oba okuzibikira. 4Alwadde enziku, buli kitanda ky'aneebakangako, na buli kintu ky'anaatuulangako, tekiibenga kirongoofu. 5Era buli anaakoonanga ku kitanda ky'ow'enziku, anaayozanga ebyambalo bye, n'anaaba mu mazzi, n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi. 6N'oyo anaatuulanga ku kintu ow'enziku ky'abadde atuddeko, anaayozanga ebyambalo bye, n'anaaba mu mazzi, n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi. 7Era n'oyo anaakoonanga ku w'enziku, anaayozanga ebyambalo bye, n'anaaba mu mazzi, n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi. 8Ow'enziku bw'anaawandanga amalusu ku mulongoofu, omulongoofu anaayozanga ebyambalo bye, n'anaaba mu mazzi, n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi. 9Amatandiiko ow'enziku g'anaatuulangako okwebagala ensolo, tegaabenga malongoofu. 10Buli akwata ku kintu ow'enziku ky'abadde atuddeko, taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi. Era n'oyo anaakisitulanga, anaayozanga ebyambalo bye, n'anaaba mu mazzi, n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi. 11Ow'enziku bw'anaakwatanga ku muntu nga tamaze kunaaba mu ngalo, akwatiddwako anaayozanga ebyambalo bye, n'anaaba mu mazzi, n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi. 12Ekintu eky'ebbumba ow'enziku ky'anaakwatangako, kinaayasibwanga. Na buli kintu kya muti ky'anaakwatangako, kinaayozebwanga mu mazzi.
13“Ow'enziku bw'anaawonanga enziku ye, anaalindangako ennaku musanvu okwetukuza, n'alyoka ayoza ebyambalo bye, n'anaaba mu mazzi agakulukuta, n'aba mulongoofu. 14Ku lunaku olw'omunaana, anaatwalanga enjiibwa bbiri, oba amayiba amato abiri, ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama, n'agawa kabona. 15Kabona anaagawangayo: erimu nga lya kiweebwayo olw'ekibi, n'eddala nga lya kiweebwayo ekyokebwa. Bw'atyo kabona anaddaabirizanga ku lw'omuntu oyo mu maaso ga Mukama, olw'enziku ye gy'alwadde.
16“Omusajja bw'anaavangamu amazzi ag'obusajja, anaanaabanga omubiri gwonna, n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi. 17Buli kintu kya lugoye oba kya ddiba amazzi ag'obusajja kwe gatonnye, kinaayozebwanga, ne kisigala nga si kirongoofu okutuusa akawungeezi. 18Era omusajja n'omukazi nga bamaze okwebaka bombi, banaanaabanga mu mazzi, ne basigala nga si balongoofu okutuusa akawungeezi.
19“Omukazi bw'anaabeeranga mu biseera eby'empisa y'abakazi eya buli mwezi, anaamalanga ennaku musanvu nga si mulongoofu. Era buli anaamukoonangako, taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi. 20Buli kintu ky'aneebakangako, oba ky'anaatuulangako mu nnaku z'ebiseera eby'empisa y'abakazi eya buli mwezi, tekiibenga kirongoofu. 21-23Buli anaakoonanga ku kitanda ky'omukazi oyo, oba ku kintu kyonna ky'abadde atuddeko, anaayozanga ebyambalo bye, n'anaaba mu mazzi, n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi. 24Omusajja aneebakanga naye mu biseera eby'empisa y'abakazi eya buli mwezi, taabenga mulongoofu okumala ennaku musanvu, era buli kitanda kye yeebakako, tekiibenga kirongoofu.
25“Omukazi bw'anaavangamu omusaayi ennaku ennyingi nga tali mu biseera bye eby'empisa y'abakazi eya buli mwezi, oba ng'ayisizza mu biseera bye ebya bulijjo, anaasigalanga si mulongoofu ennaku zonna z'anaaviirangamu omusaayi, nga bw'aba mu biseera eby'empisa y'abakazi eya buli mwezi. 26Buli kitanda kye yeebakako, ne buli kintu ky'atuulako mu kiseera ekyo, tekiibenga kirongoofu. 27Ne buli anaabikoonangako, taabenga mulongoofu, era anaayozanga ebyambalo bye, n'anaaba mu mazzi, n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi. 28Omukazi oyo bw'anaakomanga okuvaamu omusaayi, anaalindanga ne wayitawo ennaku musanvu, n'alyoka aba omulongoofu. 29Ku lunaku olw'omunaana, anaatwalanga enjiibwa bbiri, oba amayiba amato abiri, eri kabona ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama. 30Kabona anaagawangayo: erimu nga lya kiweebwayo olw'ekibi, n'eddala nga lya kiweebwayo ekyokebwa. Bw'atyo kabona anaddaabirizanga ku lw'omuntu oyo mu maaso ga Mukama, olw'okuvaamu omusaayi ogwamufuula atali mulongoofu.
31“Bwe mutyo bwe munaalabulanga Abayisirayeli ku butali bulongoofu bwabwe, baleme okubufiiramu olw'okujaajaamya Eweema yange eri wakati mu bo.
32“Ago ge mateeka ku musajja alwadde enziku, oba avaamu amazzi ag'obusajja, 33ne ku mukazi mu biseera bye eby'empisa y'abakazi eya buli mwezi, ne ku musajja eyeebaka n'omukazi atali mulongoofu.”
Currently Selected:
EKY'ABALEEVI 15: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.