EKY'ABALEEVI 21
21
Obutukuvu bwa bakabona
1Mukama n'agamba Musa nti: “Yogera ne bakabona, batabani ba Arooni, obagambe nti tewaabengawo n'omu ku bo aneefuulanga atali mulongoofu nga yeetaba mu mikolo egibaawo mu kufiirwa ab'eŋŋanda ze, 2okuggyako abo abamuli okumpi mu luganda: nnyina ne kitaawe, mutabani we ne muwala we, ne muganda we, 3oba mwannyina atannafumbirwa, ali mu mikono gye. 4Teyeefuulenga atali mulongoofu olw'abafudde ku buko.
5“Bakabona tebaamwengako nviiri ku mitwe gyabwe, wadde okukomola ku birevu byabwe, era tebaasalenga misale ku mibiri gyabwe okulaga nti banakuwadde.#Laba ne Leev 19:27-28; Ma 14:1 6Banaabeeranga batukuvu eri Katonda waabwe, era tebaavumaganyenga linnya lya Katonda waabwe, kubanga bawaayo eri Mukama ebiweebwayo ebyokebwa, by'ebyokulya ebya Katonda waabwe. Kyebanaavanga baba abatukuvu.#Laba ne 3:11
7“Kabona taawasenga mukazi eyakolako obwamalaaya, oba omukazi atali mbeerera, wadde eyagobebwa bba, kubanga kabona yayawulirwa Katonda we. 8Kale munaamwawuliranga Katonda, kubanga awaayo eri Katonda wammwe ekitone eky'ebyokulya. Munaamubalanga nga mutukuvu, kubanga nze Mukama abatukuza mmwe, ndi mutukuvu. 9Era muwala wa kabona bwe yeeyonoona nga yeefuula malaaya, aswaza kitaawe. Anaayokebwanga omuliro n'afa.
10“Ssaabakabona yafukibwako omuzigo ku mutwe gwe, n'atukuzibwa okwambalanga ebyambalo eby'obwakabona. N'olwekyo taalekenga nviiri ze nga si nsanirire, era taayuzenga byambalo bye, okulaga nti anakuwadde. 11-12Teyeefuulenga atali mulongoofu, wadde okujaajaamya Ekifo kyange Ekitukuvu, ng'akivaamu n'ayingira ennyumba erimu omulambo, ne bwe guba ogwa kitaawe oba ogwa nnyina, kubanga yanjawulirwa nze Katonda we, ng'afukibwako omuzigo omutukuvu. 13Anaawasanga omukazi akyali embeerera, 14sso si nnamwandu, oba omukazi eyaliko malaaya, wadde eyagobwa bba. Omukazi embeerera ow'omu bantu be, gw'anaawasanga, 15aleme kuvumaganya baana be mu bantu be, kubanga nze Mukama amutukuza.”
16Mukama n'agamba Musa 17ategeeze Arooni nti: “Buli wa mu zzadde lyo mu mirembe gyonna anaabangako akamogo, taasemberenga okuwaayo ekitone eky'ebyokulya ekya Katonda we. 18Buli aliko akamogo konna, taasemberenga kuweereza: muzibe, oba awenyera oba eyalemala, oba aliko awakyamu, 19wadde eyamenyeka okugulu oba omukono; 20ow'ebbango, nnakalanga, oba aliko akamogo ku liiso lye, oba alina endwadde ey'olususu, oba omulaawe. 21Tewaabengawo n'omu mu zadde lya Arooni kabona, aliko kamogo anaasemberanga okuwaayo ebiweebwayo ebya Mukama ebyokebwa, n'ekitone eky'ebyokulya. 22Ow'engeri eyo, anaalyanga ku kitone ekya Katonda we, ku mugaati omutukuvu ennyo, ne ku birala ebitukuvu. 23Kyokka olw'okuba ng'aliko akamogo, taayingirenga awali olutimbe olutukuvu, era taasembererenga alutaari, alemenga kuvumaganya ebitukuvu, kubanga nze Mukama abitukuza.”
24Awo Musa n'ategeeza Arooni ne batabani be n'Abayisirayeli bonna bw'atyo.
Currently Selected:
EKY'ABALEEVI 21: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

: